Ensujju kimu ku birime eby‘omugaso mungeri nti ensigo zaayo zirimu ekirungo zinc ne iron.
Obulimi bwensujju butataganyizibwa enima etali yamulembe.
Okuzifunamu kw‘azo kusinziira ku kukula kw‘ebika eby‘enjawulo ebirondedwa, ebiseera by‘okusigiramu wamu n‘ensimba.
Okulima ensujju
Ekifo aw‘okulandira wayina okubeera nempewo wamu n‘ekitangaala, mansa 60g ez‘ekigimusa kya NPK ne kilo3 ez‘ebigimusa by‘obutonde kubuli mita 2 mu buwanvu bwe merezo, t‘ekateeka endokwa mubungi bwa bimera 24000 buli yiika nnya era teeka ensigo emu mubuli kinya.
Eky‘okubiri endokwa zibikeko katono, zifukirire era oteeke tule mumerezo eziyitamu empewo obulungi era n‘amazzi ag‘etagisa era oluvanyuma lwennaku 8 ku 10, zifulumye mukasana zigumire embeera era sima ebinnya by‘okusimba.
Mukusimbuliza, endokwa eziyina emirandira egimeze obulungi zisimbibwa mubinnya ebiteekateekedwa eby‘obuwanvu obumala mumabanga ga mita 1.5 okuva ku kimera ekimu okuda kukirara okusinziira ku kika ky‘ekimera n‘obudde obusimbidwaamu. fukirira oluvanyuma lw‘okusimbuliza era obeere nga okebera ebirime buli kiseera okuziyiza enddwade okusaasana.
Genda mumaaso nga okozesa ebigimusa buli kiseera waggulu w‘emirandira era ogoberere emitendera egiragibwa nga bw‘ofukirira buli kiseera era webuuze kuky‘okukola.
Okukungula ensujju
Kunsujju, okukungula kukolebwa oluvanyuma lwennaku 70 – 90 nga omaze okusimbuliza okusinziira ku kubudde by‘okumakya era n‘akawungeezi n‘oluvanyuma, ebikunguddwa biteekebwa mu kisiikirize awali empewo nga zituuse okugenda kukatale.