Ebikolebwa mu kulima obulo«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=bgHYFJ7dp64&list=RDCMUC9U2fgUx3ybR8roC7RBR3YQ&index=26

Ebbanga: 

00:09:28

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2017

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Mobile Tutor
»«

Kubanga kirime kya mpeke ekirina ekiriisa ekingi, okulima obulo kukyali wansi olw‘enima embi ekiretera amakungula amatono nga nomutindo guli wansi.

Obulo buvaamu ekirungo ekyamanyi ekiyamba omubiri okulwanyisa endwadde. Okubulima kubaamu okutekateka ettaka, okukoola, okugimusa, okukungula wamu n‘enkwata yabwo nga bumaze okukungulwa.

Enima y‘obulo

Enimiro erina okutegekebwa nga osooka kutema evunike olwo nokabalakabala emirundi ebir. Kwekyo, otema obutumutumu n‘ebinya mu nimiro eyokufukirira oba okukola obulimiro obuterevu bwoba wesigama ku nkuba era notekamu nakavundira ava mu nimiro. Mu buri hactare (yiika 2.5) otekamu tani (tonnes) 8-10

Mungeri yeemu, simba 3kg ey‘ensigo buli hactare ettaka bweliba dungi ate bweriba sidungi simba 4.5kg mu hactare nga oziwa amabanga ga 30cm *60 cm okusinzira kungeri enimiro bwefukirirwa saako n‘obugimu bw‘ettaka. Mu bintundu ebyesigama ku nkuba, ensigo ziwe amabanga ga 45*10-12cm nga okozesa enkola ey‘ekyuma kya layini 6 ekisima wansi okusobola okufuna obungi bwa 1.5-1.75lakhs buli hactare.

Okweyongerayo, ensigo zigemese Azobacter oba Azospirillum okwongera ku makungula. Tekamu ebigimusa nga Nitrogen 40-60kg/ha, Phosphorus pentoxide 20-30kg/ha wamu ne Potassium bwoba wesigama ku nkubaate bwonba ofukirira otekaamu N100-120kg/ha, Phosphorus pentoxide 40-6-kg/ha wamu ne potassium. Otekamu kitundu ku kigimusa kya Nitrogen nga osimba asigalawo nomutekamu nga wayisewo enaku 45 okuva lwosimbye. Phosphorus ne P otassium bitekebwamu mu biseera bya nkuba oba nga ofukiridde.

Bwomala okufukirira okola obulimiro obuseteeze, nokabala bulungi notekamu n‘ebigimusa okusobola okukozesa amazzi obulungi. Kozesa enima e‘enjawulo, koozesa emikoza wamu n‘eddagala okwewala omuddo.

Sibyebyo byoka waggulu, naye era okukozesa enima entuufu okugeza nga odiringanya, nga obitabulatabula wamu n‘okutobeka. Nga okungula obulo, oyinza okutemera ekikolo wansi oba okutemako ekirimbasinga amazzi gatuuka ku 20% oluvanyuma lw‘enaku 85-95 era obukaze okumala enaku 2-3okwongera okubukaza paka nga amazzi gasigadde 12% olwo n‘obukuba era nobutereka.

Edwadde enkulu ze Ergot ne Downey mildew ezewalika nga ogema/onyika ensig, nga okabala, era newewala okusimba ekimera ekimu kyoka, okufuyira nebirala.

Nekisembayo, ebika by‘obulo mulimu; CZP-ic923, pusa comp 383, WCC75, HC10, HC20 and pusa comp 334.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:31Obulo bulungi mukuvaamu ebiriisa.
00:3201:29Okutekateeka enimiro kirina okukolebwa nga okabala era nokukubakuba amavunike emirundi ebbiri.
01:3001:34Kola entuumu n‘ensalosalo bwoba wakufukirira
01:3501:48Kolamu obulimiro obuseteeze bwoba wesigama ku nkuba era otekemu ekigimusa ekiva mu by‘enimiro.
01:4902:15Ensigo ziwe amabanga ga 30cm ku 60cm nga osimba nag osinzira ku ngeri gy‘ofukiriramu n‘obugimu bw‘ettaka.
02:1602:30Bwoba wesigama kunkuba, amabanga gaba ga 45cm ku 10-12cm nga okozesaenkola yokusimisa ekyuma.
02:3102:48Simba obungi bwa 1.5 ku 1.75 lakhs buli hactare.
02:4902:58Ensigo zigemese Azobacter oba Azospirillum
02:5903:33Tekamu ebigimusa ebikolebwa ebiva mu nimiro wamu n‘ebigimusa ebizungu
03:3403:47Ekigimusa kya Nitrogen kigabanyemu, osooke otekemu kitundu nga osimba olwo ekitundu ekirala okitekemu oluvanyuma lw‘enaku 45
03:4804:02Tekamu ekigimusa kya Phosphorus ne Potassium mu biseera nga enkuba etonya oba nga ofukirira.
04:0304:27Bwomala okufukirira, kola obulimiro obugazi nga busitufu, okabalire ddala wansi era otekemu ekigumusa
04:2804:46Koseza enima eyokutabula, koozesa mikono wamu n‘eddagala ly‘omuddo okugugoba.
04:4705:50Kozesa enima entuufu bwoba olima obulo
05:5106:03Okungula obulo obeera otemera ekikolo wansi wekikolo oba okutemako ekirimba nga amazzi gakendedde baka ku bintu 20 ku 100
06:0406:34Obulo obukaliza enaku 2 ku 3, nobususa olwo obutereke.
06:3506:49Obulwadde obusinga okukwata obulo mulimu Ergot wamu ne downy mildew
06:5007:34Ziyiza endwadde nga ogema ensigo, okukabala nga okka wansi, wewale okusimba ekirime kimu mu nimiro era ofuyire.
07:3508:57Ebika by‘obulo byebino; CZP-ic923, Pusa Comp383, WCC75, HC10, HC20, and Pusa Comp 334.
08:5809:28Mubufunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *