Mu kulima kasooli, waliwo olukalala lwebikolebwa ebirina okugobererwa okuva lwafubutuka mu ttaka paka lwatuuka okukungulwa bwoba onofunamu amakungula agawera.
Nga otekateka enimiro nokusimba, kebera ettaka okuyamba okumanya obungi bwebigimusa bwewetaaga okusaamu. Byonudeko kasooli bireke mu nimiro okusobola okuzaamu obugimu mu ttaka wamu nokubika ettaka. Wewale okukuma empiira kubanga kikoseza ddala obutonde wamu ne ttaka. Tokabala nnyo ttaka nga otekateka enimiro era okozese ensigo enungi era ekika ekisaniide embeera eyotolodde nobwetaavu bwo.
Ebintu ebikosa amakungula
Ekika kya kasooli kikosa amakungula ga kasooli. Ebika ebikula amangu bitera okusaako ebikoola bitono era bitera okweyongerayo okuyita mu mitendera gyokukula okusinga ebika ebikula ekikerezi.
Ebiseera byokusimba ne nkyukakyuka mu mbeera y‘obudde; abalimi bakubirizibwa okusiga nga enkuba yakatandika.
Ebiriisa ebikulu. Kikulu okutegera biriisa ki ebiri mu ttaka osobole okutekamu ebigimusa ebyetagisa okusyamba ebirime okukula okuyita mu mitendera gyona.
Emitendera emikulu nga kasooli akula.
Omutendera gwokumera. Kino kibaawo mu wiiki emu 1 nga omaze okusiga. Obuwanvu bw‘ekinnya, okumeruka kw‘ensigo n‘engeri enkuba gyetonyeemu nga omaze okusimba bijja kusalawo engeri ensigo gyezimeramu.
Okuleeta ebikoola. Bino bitandika nga wayisewo enaku 30-35 nga omaze okusiga era bino bogobererwa luyange na kuweeka.
Okukwasa ebimuli (pollination): Okukasa ebimuli obulungi kusinzira ku mbeera ya budde. Ku mutendera guno, kasooli atandika okuweeka. Ekabyo eriva ku kyeeya lisobola okukaza eminywe egivudeyo n‘oluyange ekivirako kasooli obutabako mpeke wamu nokuba nobunwe obumpi nga bulina ekikongoliro ekiwanvu.
Okutekako empeke; guno mutendera gwa nkizo era nga gubaawo nga okukwasa ebimuli kuwedde. Ekyeeya,ebbugumu eriyitiridde, endwadde z‘ebikoola nokukonziba bisobola ekimu kubyo oba byona okukosa amakungula.
Okukulira ddala; ebikoola n‘eminwe bikala. Okukungula kukolebwa ku mutendera guno.