Entekateka y‘ettaka ennungi mu kutandiika ennimiro yankizo nnyo woba ng‘oyagala okufuna mukufuna amakungula amalungi.
Ku mutendera gw‘entekateeka y‘ettaka,limawo ensiko era olekewo emitti egimu gikuyambe okuziyiza empewo osobole okwetegekera obudde webuba bukyuse. Omuddo gulekke gukale era ogw‘okye. Ettaka eritalimwa ngako liba ggimu n‘olwekyo ebigimusa tebyetagibwa mu kusimba.
Ennima ya Gojja
Funa ekiffo ekiri okumpi n‘amazzi woba osa ennimiro yo eya gojja obeere nga osoobola okufuna amazzi mu bwangu singa oba wetaaga okufukirira. Ekiffo wekiba mu ntobazi,ttema emyala mu nnimiro kikuyambe okwewala amataba mu nimiro singa enkuba eba ettonnye nnyingi.
Nga wayiseewo emyezi essattu nga omazze okusimba,ennimiro giteekemu ebigimusa ebikoleddwa mu kalimbwe esobole okufuna ebirungo.
Jjamu endokwa ezimu weziba zisuse obungi okusobola okuziyiza okuvvuganya ekiyinza okuviirako ebimmera okula empola. Endokwa ezijjidwamu osobola okuzisimba awalala okusobola okwongera ku bungi bw‘ebirime.
.Woba oyina ssente nga tolina budde osoobola okuzisiga mu kampuni ezimannyikiddwa.Banno bayamba mu kuteekerateekera ebimmera byo.