»Okulunda ebinnyonyi mu ngeri ey‘omulembe«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=JWhajBwCfyE

Ebbanga: 

00:08:19

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2018

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Sujith Kumar
»Okulunda y‘engeri y‘okulabirira ebinnyonyi nga enkoko,embaata,ssekoko, okusobola okugyamu ennyama,amagi ag‘okulya. Ebinnyonyi naddala enkoko zirundwa mu bungi. Abalunzi balunda enkoko nnyingi ezisukka mu buwumbi 50 omwaka nga zakuliibwa nnyama mpozzi n‘amagi. Enkoko ezirundidwa nga za magi ziyitibwa ezibiika wabula waliwo ezirundwa nga za nnyama .

Okulunda ebinnyonyi kyatunzi nnyo eri abalunzi era omutindo n‘obungi bwe bivamu kisinziira ku kika kya tekinologiya akozeseddwa mu bulunzi.

Okusinzira nti omulimu gw‘okulunda ebinnyonyi nga enkoko z‘omubiyumba ezibiika amagi agaliibwa, enkoko ezokutunda zitandiika okubiika amagi nga ziri wakati wa wiiki 16-20 ate nezikoma okubiika nga ziwezeza wiiki 25 noolwekyo ku wiiki 72 ekisiibo kiba tekikyaza magoba. Embeera y‘obudde yekennenyezebwa nnyo mu kuteekateeka ebibiikiro era okubiika kubaawo mu myezi gy‘ebbugumu gyokka.

Ennunda ey‘omulembe.

Mu kulunda okw‘omulembe,ekiyumba kikolebwa ebinyuma nga bigyamu enkoko eziri wakati we 3-8 ne bisenge bikolebwa obutimba oba ekyuma ekiggumu olwo wansi wakolebwa nga waserengeta okusoboozesa kalimbwe na magi okulondebwamu oluvanyuma.

Okwongerezako, amazzi bagava waggulu negakirira wansi mu binywero n‘emmere eteekebwa mu ngogo mu maaso g‘ekiyumba okusobozesa okuddabiriza obulungi nga ebyetaago webiri. Ebiyumba by‘obutimba bitegekebwa mu nyiriri empanvu nga bigazimu erudda ne ludda kisobozese ebinnyonyi okufiibwako obulungi mpozzi n‘okulonda obulungi amagi. Okuziriisa ekitono kyetaagisa kuba kyongera ku bungi bwa magi n‘ekiziremesa okugamamira, ebiwuka by‘omunda bijjanjabibwa ekikendeeza ku muwendo gwa bakozi. Era ebinnyonyi biba bingi mu kiyumba ekiyamba ku mutindo n‘okukendeeza ku muwendo gw‘emmere gyezirya.

Mu ngeri y‘emu wansi wezibeera walina okuba n‘obuwanvu bwa miita 300. Naye ekiyumba ky‘obutimba tekisobozesa binyonyi kuyimirira ,kutambula,n‘okwalula obulungi era kimanyiddwa wonna nti ebinnyonyi byetamwa kuba ziba tezisobola kwetaya bulungi olwa mabanga amatono.

Mu kumaliriza mu kiyumba ekizimbiddwa obulungi, ebinnyonyi bifuna amabanga agamala era kyanguya okuzifaako, okulonda amagi ate nga mayonjo.

Era kyetaagisa emmere ntono ddala okubiika amagi mpozzi ne kiyumba ekikoleddwa obulungi.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:25Okulunda ebinnyonyi mutendera gw‘okukuza enkoko mu biyumba
00:2600:39Enkoko ez‘okutunda zitandiika okubiika ku wiiki 16 ne 20.
00:4000:45Okubiika amagi kukendeera naddala nga enkoko ziri ku wiiki eya 25 .
00:4601:02ku wiiki 72 ekisiibo kiba tekikyaza magoba.
01:0301:21Embeera y‘obudde yekennenyezebwa naddala mu bibiikiro.
01:2201:34Okubiika amagi kubaawo mu myezi gye bbugumu era ezimu zibiika amagi agawera 300 mu mwaka.
01:3501:39Ekiyumba kikolebwa ebyuma eby‘omulembe era nga kigendamu enkoko wakati wa 3-8
01:4001:52Ebisenge bikolebwa ebyuma ebiggumu oba obutimba era wansi walina okuba nga waserengeta.
01:5302:08Amazzi gategekebwa nga gali wagulu mu mpira era emmere etekebwa mu ngogo mu maaso g‘obutimba.
02:0902:39Ebiyumba by‘obutimba bitegekebwa mu nnyiriri n‘obutimba erudda ne ludda,
02:4003:04Emmere ntono eyetaagisa, okumamira kukendeezebwa,ebiwuka by‘omunda bijjanjabwa, era nabakozi baba batono.
03:0503:35Mu bamu ebinyonyi bingi okusinzira ku bugazi era wansi walina okuba wawanvuyirivu .
03:3604:01mu kiyumba ky‘obutimba ebinnyonyi tebiyimirira, tebitambula n‘okwalula obulungi olwa mabanga amatono.
04:0204:20Mu kiyumba ekizimbiddwa obulungi, enkoko zifuna amabanga agamala
04:2104:31Kyangu nnyo okufa ku binnyonyi, okulonda amagi nga mayonjo.
04:3204:39Kyetaagisa emmere ntono mpozzi n‘ekiyumba ekizimbiddwa obulungi
04:4005:04Ebinnyonyi bifuna ebiwuka by‘omunda bitono ate kikendeeza ne ku bakozi bewandikozeseza.
05:0505:19Mu bufunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *