Endwadde ze zimu ku bisoomooza ebiri mu bulunzi bw‘embuzi.
Okusuubula ensolo kye kimu ku bizibu ebiri mu mulimu gw‘obulunzi anti buli kiseera oba oleeta ensolo empya ez‘enjawulo ku faamu. Mu kuzitambuza , ensolo zinafuwa , obusooboozi bw‘omubiri okulwanyisa endwaddebunafuwa era wewabaawo ekirwadde ekibalusewo kigiyisa bubi nnyo. Bwosubula ensolo empya ku ddundiro, ziteeke zokka era oziwe ebirungo ebirwa mu mubiri ebya oxytetracycline ne vitamin okwongera ku busoobozi bw‘omubiri okugonzamu emmere kisobozese ensolo ensolo okulya emmere ennyingi n‘okuwona ekkabiriro.
Obubonero kw‘olabira obulwadde
Obubonero bw‘endwadde mulimu okukolola, obukosefu bw‘omubiri,ensolo okukaaba nga efa n‘okukyama kw‘ ensingo
Okubimba ejjovu okuva mu nsolo enfudde oba ennamu kabonero akalaga nti ensolo erina obulwadde bwa heart water bweba nga ekolola ate obukosefu bw‘omubiri kabonero ka kirwadde ekisaasaana amangu ekya caprine pleuropneumonia.
Okulwanyisa ekirwadde
Okusobola okulwanyisa ekirwadde kya heart water ne kirwadde ekirala ekisaasaana amangu ekiyitibwa Caprine Pleuropneumonia, Kyetaagisa okufuuyira n‘okugema. Ekirwadde kya caprine pleuropneumoni, jjanjaba nga okozesa eddagala eriyitibwa tylosin okumala ennaku 5 ez‘okumukumu ate bwoba ojjanjaba ekirwadde kya heart water kozesa eddagala eriyitibwa oxytetracycline 20% okumala wiiki emu nnamba.
Obuyonjo bwetaagisa nnyo mu kulwanyisa obulwadde.