»Engeri y‘okutangiramu okubalukawo kw‘endwadde mu mbuzi«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=4ayI8gjrJDM

Ebbanga: 

00:08:59

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2021

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Hamiisi Semanda
»«

Endwadde ze zimu ku bisoomooza ebiri mu bulunzi bw‘embuzi.

Okusuubula ensolo kye kimu ku bizibu ebiri mu mulimu gw‘obulunzi anti buli kiseera oba oleeta ensolo empya ez‘enjawulo ku faamu. Mu kuzitambuza , ensolo zinafuwa , obusooboozi bw‘omubiri okulwanyisa endwaddebunafuwa era wewabaawo ekirwadde ekibalusewo kigiyisa bubi nnyo. Bwosubula ensolo empya ku ddundiro, ziteeke zokka era oziwe ebirungo ebirwa mu mubiri ebya oxytetracycline ne vitamin okwongera ku busoobozi bw‘omubiri okugonzamu emmere kisobozese ensolo ensolo okulya emmere ennyingi n‘okuwona ekkabiriro.

Obubonero kw‘olabira obulwadde

Obubonero bw‘endwadde mulimu okukolola, obukosefu bw‘omubiri,ensolo okukaaba nga efa n‘okukyama kw‘ ensingo

Okubimba ejjovu okuva mu nsolo enfudde oba ennamu kabonero akalaga nti ensolo erina obulwadde bwa heart water bweba nga ekolola ate obukosefu bw‘omubiri kabonero ka kirwadde ekisaasaana amangu ekya caprine pleuropneumonia.

Okulwanyisa ekirwadde

Okusobola okulwanyisa ekirwadde kya heart water ne kirwadde ekirala ekisaasaana amangu ekiyitibwa Caprine Pleuropneumonia, Kyetaagisa okufuuyira n‘okugema. Ekirwadde kya caprine pleuropneumoni, jjanjaba nga okozesa eddagala eriyitibwa tylosin okumala ennaku 5 ez‘okumukumu ate bwoba ojjanjaba ekirwadde kya heart water kozesa eddagala eriyitibwa oxytetracycline 20% okumala wiiki emu nnamba.

Obuyonjo bwetaagisa nnyo mu kulwanyisa obulwadde.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:23Okusuubula ensolo kye kimu ku bisoomooza mu bulunzi
01:2402:40Fuba nnyo okukwata obulungi ensolo empya ku ddundiro
02:4103:05Obubonero obw‘enjawulo kw‘olabira embuzi erina obulwadde
03:0603:45Ensolo efudde oba ennamu okubimba ejjovu kabonero akalaga nti erina ekirwadde kya heart water.
03:4604:04Okukolola n‘obukossefu bw‘omubiri bubonero obulaga ekirwadde ekisaasaana amangu ekya Caprine Plueropneumonia
04:0507:40Okufuuyira, okugema, n‘okukozesa eddagala biyamba okulwanyisa obulwadde.
07:4108:00Obuyonjo bwetaagisannyo mu kulwanyisa endwadde.
08:0108:59Mu bufunze.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *