Okubera ekyamaguzi ekirungi, omutindo gw‘ente wamu n‘obungi kisinzira ku mutendera n‘ekika kya tekinologiya akozesebwa.
Okulunda ente mulimu ogunira ddala era nga okutandika, kyetagiisa pulani, okusalawo ku bunene bw‘ebirundibwa, obudde, obungi bw‘ente buli lulunda, ekifo kyokulundilamu n‘akatale akalubirirwa.
Endabirira y‘ente
Tandika mpola nga bwoyongerako nga wayisewo ebiseera era obalebalemu obusobozi bwokulunda ente z‘ennyama okusinzira ku beeyi mu katale, sinzira ku kika ky‘ente era n‘enjawulo mu bukulu kuba ebika ebyenjawulo biyisibwa bulala nga oyagala kulunda nte z‘anyama. Sente ezigula ente zo zirina okuberangawo.
Mu ngeri yemu ekiralo kirana okubeera nga kiserekebwa G.I wamu newansi nga wa nkokoto nga nebinyweramu biri munda. Kino kirina okuba nga kitangaala era nga kiri kumpi nawaka w‘omulunzi. Buli nte kibalire 1.5 ku 4.5 sqm era oziwe emere erimu ebirungo okusobola okugejja.
Obungi bw‘emere gyoziwa businzira ku buzito n‘obukulu bw‘ente era wano ziwe wakati wa 8kg ne 15kg buli nsolo buli lunaku. Obungi bw‘abakozi businzira ku bunene bwa faamu n‘emirimu.
Nekisembayo, kyetagisa okuba nobukugu okusobola okufunamu. Enyama osobola okugiguza amaka, abagitunda, amasomero, woteeri, kampuni n‘amadduuka amanene.