Kubanga kirungi okusaamu sente, okulunda enkoko z‘amagi omutindo n‘obungi bisinzira ku mutendera n‘ekika kya tekinologiya ekikozesebwa
Enkoko z‘amagi zirina okulundibwa okuva ku lunaku lumu era zitandika okubiika ku faamu ezigatunda ku wiiki 18 ku 19 era zibikira ddala paka ku wiiki 72 ku 78. Zirya kilo 2.25 ez‘emere buli emu mu kiseera nga zibiika.
Endabirira y‘enkoko
Nga bwekiri ekikulu okulunda enkoko mu wiiki ezisooka nga zakalulwa, kola awanywerwa amazzi awalungi munda mwezifunira ebbugumu era oziyigirize okunywa amazzi agabeera amatabule ebintu 5 ku 100 sukaali(glucose) aziyamba okufuna amaanyi.
Zisaleko emimwa bweziba ziwezeza enaku 8 ku 10 okuva lwezalulibwa era wiiki 8 ku 10 bweziba nga zikula. Emimwa gisalire ku 0.2cm okuva ku buyindo nga nto wamu ne 0.45cm bweziba zikuzeemu era osale gyombi buli gumu lwagwo nga okozesa ekyuma ekiwagale obulungi okusala emimwa. Tozisala nga tewanayita naku 2 okuva lwezigemedwa oba okufuna eddagala oba mu budde obubi ennyo oba nga zitandise okubiika.
Mungeri yemu, ziwe amazzi amayonjo bweziba zigetaaka. Amazzi galongoose nga okozesa pawudda ayelusa oba CL era oziwe amazzi nga ganyogoga mu biseera by‘omusana ate oziwe agekibugumirize mu biseera by‘obunyogovu era okozese Calcium, Phosphorus Vitamini, amino acids ebimala mu mere eziweebwa okusinzira ku bukulu n‘obunene bwazo.
Enkoko ziwe emere nga erimu protein ne minerals era oziwe ebintu 2 ku 100 Calcium nga ziwezeza wiiki biri olwo oziwe emere esokerwako paka ku wiiki 4 era nga ozigabirira emirundi 2 ku 3 paka ku wiiki 18. Ziriise okusinzira kubukulu n‘obuzito bwazo era tokendeeza mere gyoziwa bweziba zibiika.
Okwongerako, ku wiiki 20 ebintu 5 ku 100 bitandiika okubiika ate ebitundu 10 ku wiiki 21 ate ku wiiki 26 ku 30 nga okubiika kungi nnyo. Obungi n‘obunene bw‘amagi agabikibwa bigenda byeyongera mpompola paka nga enkoko ziwezeza wiiki 50.
.Ekisembayo, kola entekateka y‘okugema okukuuma enkoko nga tezifuna bulwadde era nokwongera okugumira obulwadde.