»Engeri ennyangu era ekekkereza ey‘okulundamu embaata ez‘amagoba – Obulunzi bw‘ebinyonyi Ekitundu 1«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=_W95DO54iAI&list=PUZfzFgmReSD09S2L-cvg8uA&index=34

Ebbanga: 

00:10:40

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2022

Ensibuko / Omuwandiisi: 

»«

Embaata zisobola okulundibwa nga tewali mazzi ng‘ozikuumira munda mu nnyumba yaazo naye nga omanyi nti okuzirunda awatali mazzi zijja kwalula amagi amasumba ekitegeeza nti tezisobola kwalula magi ago noolwekyo embaata ensajja n‘amazzi bya nkizo bwoba oyagala amagi agasobola okwalulwa wamu n‘okuzeewaza okuziba amaaso.

Mu mbaata ento, zeetaaga ebbugumu ppaka nga zifunidde ddala ebyoya noolwekyo ebbugumu mu kkulizo mu wiiki esooka ey‘obulamu bwabwo ebeera 90 degrees Fahrenheit era buli wiiki oluvannyuma kendeezaako ddiguli ttaano.

Olulyo lw‘embaata

Ekika ky‘embaata ekya pekin kirundibwa nnyo ng‘ekyennyama olw‘okuba nti zikula mangu okutuuka ku kilo 2.5 mu wiiki 7-8 era zikola emirimu gya mirundi ebiri era nnungi kubanga zisobola n‘okubiika amagi. Olulyo lwa muscovy lulundibwa nnyo olw‘okuba zimanyiira ne zeeyiggira eby‘okulya ekizisobozesa okuwa ennyama naye zikula mpola.

Okubiika amagi lunda olulyo lwa khaki campbell kubanga lusobola okubiika amagi 300-330 buli mwaka nga zirabiriddwa nnyo n‘okubiika amagi 175-225 buli mwaka nga tezirabiriddwa nnyo.

Ebigobererwa mu kuzimba ennyumba z‘embaata

Mu kuzirunda nga zirabiriddwa nnyo, teekawo ebbanga lya 4-5 square feet mu buli mbaata ezibiika ne 3 square feet mu buli mbaata z‘ennyama. Mu kuzirunda nga tezirabiriddwa nnyo, ennyumba zirina okuba nga zizanguyiza okufulumamu.

Lekawo 3-4 square feet ku buli mbaata we zisula ekiro ne 10-15 square feet ku buli mbaata ku nnyumba z‘ebweru.

Emigaso gy‘embaata

Zisobola olundibwa mu nnyumba ezikekkereza, ennyangun‘ennyumba ez‘ebweru, zikulira mu bbanga ttono, tezitera kulumbibwa ndwadde za avian noolwekyo tezifa nnyo.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:35Obulunzi bw‘ebinyonyi kwe kulunda ebinyonyi by‘ewaka.
00:3601:36Kyenkana embaata ziva mu kika kya mallard.
01:3702:30Okulunda embaata n‘okwalula.
02:3103:25Emigaso gy‘okulunda embaata.
03:2603:56Ebika by‘olulyo lw‘embaata mu nsi.
03:5704:35Lowooza ku ngeri ennyangu y‘okufuna olulyo lw‘oyagala okulunda.
04:3605:07Mu kubiika amagi, londa olulyo lwa Khaki campbell.
05:0805:40Okulunda ezikola emirimu ebiri, olulyo lwa pekin lwe lusinga.
05:4106:26Okulabirira ennyumba z‘embaata.
06:2707:08Omugaso gw‘ebifo awanywerwa mu kulunda embaata.
07:0907:53Ekiseera ky‘okukuza n‘emigaso gy‘olulyo lwa muscovy mu kukuza.
07:5408:24Ebigobererwa mu kulunda embaata ento.
08:2508:58Ebyetaagibwa mu kkulizo n‘okulabirira ekkulizo mu mbaata.
08:5909:33Engeri y‘okulabiriramu embaata ento.
09:3410:05Okuteekawo ebiriirwamu n‘ebinyerwamu by‘embaata ento.
10:0610:40Okulunda embaata ento mu kkulizo.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *