Embaata zisobola okulundibwa nga tewali mazzi ng‘ozikuumira munda mu nnyumba yaazo naye nga omanyi nti okuzirunda awatali mazzi zijja kwalula amagi amasumba ekitegeeza nti tezisobola kwalula magi ago noolwekyo embaata ensajja n‘amazzi bya nkizo bwoba oyagala amagi agasobola okwalulwa wamu n‘okuzeewaza okuziba amaaso.
Mu mbaata ento, zeetaaga ebbugumu ppaka nga zifunidde ddala ebyoya noolwekyo ebbugumu mu kkulizo mu wiiki esooka ey‘obulamu bwabwo ebeera 90 degrees Fahrenheit era buli wiiki oluvannyuma kendeezaako ddiguli ttaano.
Olulyo lw‘embaata
Ekika ky‘embaata ekya pekin kirundibwa nnyo ng‘ekyennyama olw‘okuba nti zikula mangu okutuuka ku kilo 2.5 mu wiiki 7-8 era zikola emirimu gya mirundi ebiri era nnungi kubanga zisobola n‘okubiika amagi. Olulyo lwa muscovy lulundibwa nnyo olw‘okuba zimanyiira ne zeeyiggira eby‘okulya ekizisobozesa okuwa ennyama naye zikula mpola.
Okubiika amagi lunda olulyo lwa khaki campbell kubanga lusobola okubiika amagi 300-330 buli mwaka nga zirabiriddwa nnyo n‘okubiika amagi 175-225 buli mwaka nga tezirabiriddwa nnyo.
Ebigobererwa mu kuzimba ennyumba z‘embaata
Mu kuzirunda nga zirabiriddwa nnyo, teekawo ebbanga lya 4-5 square feet mu buli mbaata ezibiika ne 3 square feet mu buli mbaata z‘ennyama. Mu kuzirunda nga tezirabiriddwa nnyo, ennyumba zirina okuba nga zizanguyiza okufulumamu.
Lekawo 3-4 square feet ku buli mbaata we zisula ekiro ne 10-15 square feet ku buli mbaata ku nnyumba z‘ebweru.
Emigaso gy‘embaata
Zisobola olundibwa mu nnyumba ezikekkereza, ennyangun‘ennyumba ez‘ebweru, zikulira mu bbanga ttono, tezitera kulumbibwa ndwadde za avian noolwekyo tezifa nnyo.