»Okulima ennyaanya ezaamagoba mu kukozesa tekinologiya ow‘ennyumba erimirwamu -Ekitundu 2«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=M_iKGlRHzLg

Ebbanga: 

00:11:58

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2020

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Farm Kenya
»Emitendera emirungi egy‘okulimira mu nnyumba egyakolebwa Geoffery Nyandoro omukugu okuva mu Latia Resource Center muKajiado.«

Ebirime by‘ennyaanya birina okuba n‘emirandira egikuze obulungi. kino kya kukakasa nti ebirime byo bisobola okuwanirira ebikoola n‘ebibala. Obutaba na mirandira gikuze bulungi kireetera emirandira egyo okuvunda olw‘okulegama kw‘amazzi okwetooloola emirandira.

Mu kusimbuliza kakasa nti tosima binnya biwanvu emirandira gireme okubeera wansi ennyo mu ttaka. Kikubirizibwa okugeraageranya embeera mu mmerusizo okusobozesa okusimbuliza okulungi. Mu nnyumba erimirwamu, omulimi alina okuba n‘enteekateeka ennungi ey‘okufukirira mu lunaku lwonna. Kikubirizibwa lwa nsonga nti ebirime bikosebwa singa tebifukirirwa okumala ebbanga eddene. Fukirira okumala ebbanga ettono buli luvannyuma lw‘essaawa mu lunaku lwonna okwewala okufukirira ennyo.

Okwenkanyankanya ettaka n‘amazzi

Nyigira ettaka mu kibatu kyo okukebera obuweweevu bwalyo. Ebbugumu bwe liba eringi yongera ku mazzi okukakasa nti ettaka liweweevu. Okusobola okwenkanya ebirime teekawo omwenkanonkano wakati w‘ebimuli n‘ebibala, n‘endu n‘ebikoola.

Okusalira kikulu, ng‘oggyako ebikoola ebikadde, ekibala ky‘ennyaanya kijja kukula buli luvannyuma lw‘ebikoola bisatu. Okusalira kulina okukolebwa nga weeteeseteese okukungula. Zikungule n‘obukonda bwazo okwongera ku buwangaazi bw‘ennyaanya

Okutangira ebitonde ebyonoona ebirime

Ennyaanya zirumbibwa nnyo obulwadde n‘ebitonde ebyonoona ebirime. Okwewala obulwadde kozesa enkola ennansi, okuzirabirira n‘okuziyonja n‘okukozesa eddagala ly‘ebirime. Obulwadde obulumba ennyaanya bwe bwa Pythium obusangibwa mu ttaka.

Ebitonde ebyonoona ebirime mulimu obuwojjolo obweru n‘obuwuka obunyunyunsi (thrips). Okulwanyisa ebitonde ebyonoona ebirime, kozesa emitego okubitangira. Emitego gya kyenvu gikwata buwojjolo bweru ate emitego gya bululu gikwata buwuka bunyuunyunsi. Ekiwuka kya Tuta absoluta kitegebwa n‘omutego gwa pheromone. Ebirime byo bw‘obiwa ekifo ekirungi bijja kukula bulungi.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:00Emirandira gy‘ennyaanya egikuze okuwanirira ennyaanya.
01:0201:42Enteekateeka y‘okufukirira mu lunaku.
01:4302:44Bulijjo kebera obuweweevu bw‘ettaka.
02:4504:18Okwenkanyankanya ebirime mu nnyumba erimirwamu.
04:1905:12Okusalira kikulu mu kulima ennyaanya.
05:1306:10Okusalira kulina okutandika wakati wa wiiki 5-3.
06:1107:12Okukula obulungi, kakasa nti ekibala tekikoona ku ttaka.
07:1308:02Zikungule n‘obukonda bwazo okwongera ku buwangaazi bw‘ennyaanya.
08:0208:35Okutangira ebitonde ebyonoona ebirime kiwa ebirime embeera ennungi.
10:3610:30Ekiwuka kya Tuta absoluta kitegebwa ne telamon.
10:3111:58Ekifunze.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *