Ebirime by‘ennyaanya birina okuba n‘emirandira egikuze obulungi. kino kya kukakasa nti ebirime byo bisobola okuwanirira ebikoola n‘ebibala. Obutaba na mirandira gikuze bulungi kireetera emirandira egyo okuvunda olw‘okulegama kw‘amazzi okwetooloola emirandira.
Mu kusimbuliza kakasa nti tosima binnya biwanvu emirandira gireme okubeera wansi ennyo mu ttaka. Kikubirizibwa okugeraageranya embeera mu mmerusizo okusobozesa okusimbuliza okulungi. Mu nnyumba erimirwamu, omulimi alina okuba n‘enteekateeka ennungi ey‘okufukirira mu lunaku lwonna. Kikubirizibwa lwa nsonga nti ebirime bikosebwa singa tebifukirirwa okumala ebbanga eddene. Fukirira okumala ebbanga ettono buli luvannyuma lw‘essaawa mu lunaku lwonna okwewala okufukirira ennyo.
Okwenkanyankanya ettaka n‘amazzi
Nyigira ettaka mu kibatu kyo okukebera obuweweevu bwalyo. Ebbugumu bwe liba eringi yongera ku mazzi okukakasa nti ettaka liweweevu. Okusobola okwenkanya ebirime teekawo omwenkanonkano wakati w‘ebimuli n‘ebibala, n‘endu n‘ebikoola.
Okusalira kikulu, ng‘oggyako ebikoola ebikadde, ekibala ky‘ennyaanya kijja kukula buli luvannyuma lw‘ebikoola bisatu. Okusalira kulina okukolebwa nga weeteeseteese okukungula. Zikungule n‘obukonda bwazo okwongera ku buwangaazi bw‘ennyaanya
Okutangira ebitonde ebyonoona ebirime
Ennyaanya zirumbibwa nnyo obulwadde n‘ebitonde ebyonoona ebirime. Okwewala obulwadde kozesa enkola ennansi, okuzirabirira n‘okuziyonja n‘okukozesa eddagala ly‘ebirime. Obulwadde obulumba ennyaanya bwe bwa Pythium obusangibwa mu ttaka.
Ebitonde ebyonoona ebirime mulimu obuwojjolo obweru n‘obuwuka obunyunyunsi (thrips). Okulwanyisa ebitonde ebyonoona ebirime, kozesa emitego okubitangira. Emitego gya kyenvu gikwata buwojjolo bweru ate emitego gya bululu gikwata buwuka bunyuunyunsi. Ekiwuka kya Tuta absoluta kitegebwa n‘omutego gwa pheromone. Ebirime byo bw‘obiwa ekifo ekirungi bijja kukula bulungi.