»Okulima endokwa z‘obummonde ennyonjo mu nkola y‘okulimira mu mazzi agatabuddwamu ebiriisa – Ekitundu ekisooka.«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=ahpQBsVe0J8&list=PLXyMQiXhVt9rofgCodEPE6xUs5CVyG5be&index=13

Ebbanga: 

00:14:43

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2020

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Farm Kenya
»Enkola ez‘omulembe ez‘okuzaazaamu ensigo amangu ku ssettendekero wa Egerton okuyita mu nkola z‘obulimi obutambulira ku mbeera y‘obudde okulaba nga ofuna amakungula g‘obummonde obuli ku mutindo wamu n‘ebirala bingi.«

Enkyukakyuka mu mbeera y‘obudde zireeseewo ebiseera by‘enkuba okutonnya nga tesuubirwa ekireeta amataba n‘ebyeya ebibi ennyo, ne bikosa obungi bw‘emmere esobola okumala abantu n‘ekivaamu by‘ebirime ebitono n‘okufuna emmere entono okuva mu nnimiro.

Kenya nsi esobolera ddala okulima obummonde mu bungi olw‘obuweweevu bw‘embeera y‘obudde mu bitundu eby‘ensozi. Obulimi n‘obulunzi obutambulira ku mbeera y‘obudde kuyamba abalimi okwanganga okusoomooza okuleetebwawo ebbula ly‘amazzi mu kulima emmere ne mu kukozesa enkola ennungi mu kufukirira. Enkola z‘okufukirira ezikola omulimu omunene mu bbanga ettono, mulimu, okw‘olufu, okw‘okukozesa empiira ezifukirira amazzi, okufukirira okw‘amatondo wamu n‘okufukirira okw‘okukozesa emikono n‘ebidomola ebifukirira, newankubadde okufukiriza emikono y‘enkola esembayo okukola omulimu omunene mu budde obutono. Enkola ez‘okukuuma amazzi ku nnimiro mulimu, okubikka ennimiro, n‘okukozesa ekibaafu okukuumira amazzi mu kimera.

Okulima obummonde

Okufuna amakungula amatono mu bummonde kiva ku kuba nti abalimi bakozesa ensigo ezaakozesebwako oba ezizzeemu okusimbibwa ezitera okubeeramu ebitonde ebyonoona ebirime era bikendeeza amakungula.

Obulimi bw‘okumereza ebirime mu magezesezo g‘ebya ssaayansi nga bakozesa obutaffaali bwabyo kiyamba okuzaazaamu ebikumi n‘ebikumi by‘ebimera ebifaanagana era bisobola okufunibwa mu myezi munaana. Enkola ey‘okugatta ebimera yeetaaga ebbanga lya myaka nga ena n‘ekitundu ensigo esobole okuva mu kubeera etandikirwako okudda mu nsigo ekakasiddwa.

Obulimi bw‘okulimira mu mazzi agatabuddwamu ebiriisa

Ebirime ebirimiddwa mu mazzi agalimu ebiriisa birina emmeza y‘endokwa ennamu obulungi era zibeera tezirina ndwadde eziva mu ttaka. Tabula ebikuta bya coco bye bamaze okusa wamu n‘ettaka ery‘olusenyusenyu, teeka ensimbo mu mabanga ga ssentimmita makumi abiri. Zisimbe nga ziriraanaganye.

Ebyo bye bamaze okusa okuva mu bikuta bya coco bisobola okukuuma oluzzizzi olusobola okugabirira emirandira egisimbiddwa nga giriko obusongezo. Ettaka ly‘olusenyusenyu liva mu ttaka ery‘ensozi, liyitamu mangu amazzi, obuwuka obuleeta endwadde awamun‘ olukuku tebisobola kulikuliramu. Okuva mu nsimbo emu, omuntu ayinza okufuna emitunsi emitonotono kkumi n‘etaano. Kya bbeeyi okutta obuwuka mu ttaka era kimenya.

Yongera okusoma ennyo ku nnima y‘ndokwa z‘obummonde mu nkola y‘okulimira mu mazzi agatabuddwamu ebiriisa – Ekitundu ekyokubiri.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:39Ebibi ebireetebwa enkyukakyuka mu mbeera y‘obudde.
00:4001:49Okusomesa ku nnima egoberera embeera y‘obudde.
01:5002:32Enkola ez‘enjawulo ez‘okufukirira.
02:3303:06Enkola ez‘okukuumamu amazzi.
03:0703:40Emigaso gy‘okufukirira obummonde.
03:4104:51Ebireeta amakungula amatono mu bummonde.
04:5206:21Okulima obummonde
06:2207:40Ebbugumu oba obunnyogovu obusaana mu kulima obummonde.
07:4108:37Ensimba y‘ekirime mu kumeza ebirime mu magezesezo g‘ebya ssaayansi nga bakozesa obutaffaali bwabyo.
08:3809:38Enkola ez‘okugatta ebitundu by‘ebirime.
09:3911:19Okukozesa ennima eyoomumazzi agatabuddwamu ebiriisa wamu n‘ebikuta bya coco bye bamaze okusa era n‘ettaka ery‘olusenyusenyu.
11:2012:29Amabanga ageetaagisa mu kusimba ensimbo ezirina emirandira okuli obusongezo.
12:3013:20Okugeraageranya okukozesa ettaka eriteekeddwamu eddagala n‘ettaka eddungi eritaliimu bulwadde wadde obuwuka.
13:2114:19Okufuna emitunsi emitonotono okuva mu nsimbo emu.
14:2114:47Ekifunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *