»Okukola omukka ogukolebwa mu bintu eby‘obutonde(Biogas) nga okozesa ebitakyetaagibwa ebivudde mu ffumbiro«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=rEI1PLYuPgg

Ebbanga: 

00:03:50

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2021

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Farm Kenya
»www.Farmers.co.ke kibanja eky‘ebyesigika ebikwata ku bulimi n‘obulunzi n‘obulimi obukola amagoba ku mikutu gy‘amawulire egy‘enjawulo. «

Enkola z‘omukka ogukoleddwa mu by‘obutonde (Biogas) tezisibiddwa ku lutabu lwa busa bwa nte bwokka. Ebikuta by‘obummonde, ebisosonkole by‘amagi wamu n‘obukunkumuka bw‘emmere bisobola okukozesebwa mu nkola z‘omukka ogukoleddwa mu bintu eby‘obutonde okukola omukka ogwo.

Okukozesa olutabu lw‘obusa bw‘ente mu nkola y‘omukka ogukolebwa mu bintu by‘obutonde kusobola okubeera kwa mulundi gumu oba ebiri mu wiiki awo emirundi egisigadde gisobola okuteekebwa ku nkozesa y‘ebitakyetaagisa ebivudde mu ffumbro.

Okukola omukka okuva mu by‘obutonde

Temaatema ebivudde mu ffumbiro bifuuke butundutundu okusobozesa awakolerwa omukka okufuna obulungi ebivudde mu ffumbiro nga biyita mu mumwa gwakyo.

Oluvannyuma lw‘okutemaatema ebivudde mu ffumbiro, gattamu amazzi okubiyambako okukkirira amangu wansi.

oluvannyuma lw‘okuteekebwa mu kifo omukka mwe gukolerwa, bijja kutandika okwemenyaamenya n‘okuvunda. Ebibirimu bikyuka okuyambako okukola engeri y‘amafuta agakoleddwa mu by‘obutonde n‘omukka gwa methane.

Ebirungi

Guyamba okulongoosa ebitwetoolodde, gukendeeza ku maanyi omuntu ge yandikozesezza era tekyetaaga kukisaasaanyizaako nnyo ssente.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:10Ebirungo eby‘okukozesa mu nkola ez‘omukka oguva mu by‘obutonde.
01:1101:50Okugatta ebitakyetaagisa ebivudde mu ffumbiro mu nkola z‘omukka oguva mu by‘obutonde.
01:5102:36Okukola omukka okuva mu by‘obutonde.
02:3703:30Emiganyulo egiri mu nkola ez‘omukka ogukolebwa mu by‘obutonde.
03:3103:50Ekifunze.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *