Emiti egimu giddamu ne gimeruka ne gikula oluvannyuma lw’okugisala naye ebiseera ebisinga oyinza obutagyetaaga kuddamu kumeruka. Eddagala erifuuyira enkolokolo z’emiti lisobola okukozesebwa okwewala kino.
Enzijanjaba y’enkolokolo nkola ya mitendera ebiri era omutendera ogusooka gulimu okusala omuti. Ku nduli entono, osobola okukozesa omusumeeni naye ku nduli ennene ojja kwetaaga ekyuma ekisala emiti. Ng’okozesa ekyuma ekisala emiti, kakasa nti okozesa eby’okwekuumisa omuli elementi, ebibikka amatu, ebibikka amaaso, ebyambalo by’okusaliramu, ebisabika engalo ne gambuutu.
Enkozesa y’eddagala erifuuyira
Mu kutabula n’okukozesa eddagala erifuuyira, ojja kwetaaga eby’okwekuumisa era bye bino; ebibikka engalo, ebibikka amaaso, essaati y’emikono emiwanvu n’empale, gambuutu n’ekifuuyira.
Oluvannyuma lw’okusala omuti, osobola okuteekako eddagala lyo kati naye jjukira okukyusa ebyambalo by’okusaliramu omuti oyambale eby’okufuuyira enkolokolo.
Ku nduli ennene, teekako eddagala erifuuyira ku mabbali g’enkolokolo (cambium layer). Enkuba oluvannyuma lw’essaawa mukaaga oba wansi waazo oluvannyuma lw’okufuuyira kikendeeza ku maanyi g’eddagala erifuuyira.
Ku nduli entono, enduli gisale ng’okozesa omusumeeni era osiige waggulu w’enkolokolo wonna ng’okozesa eddagala erifuuyira.
Enkola y’okujjanjaba enkolokolo n’eddagala erifuuyira ekola nnyo ku nduli ennene singa eddagala erifuuyira liteekebwako mangu ddala nga w’akasala okusinziira ku bulambe, awo kizibu okuddamu okumeruka.