Eby’ennyanja ebisunsuddwa obulungi bya mugaso nnyo eri ababirya n’ababisunsula kubanga tebikosa bulamu bwa babirya atera biyingiza ensimbi nnyingi nnyo.
Okupakira obulungi eby’ennyanja kibiyamba obutayonoonebwa biwuka, kiyamba mu kubitambuza n’okubifunira akatale. Okwongerezaako, okubipakira obulungi n’okubitereka kyongera obuwangaazi bwabyo. Ebiseera ebisinga obuwuka obusirikitu n’ebyanguya mu kukuba emmere byebisinga okuleetera eby’ennyanja okwonooneka amangu.
Eby’okuteeka mu nkola
Bulijjo, yozanga eby’ennyanja ng’okozesa amazzi amayonjo agali ku mutindo okuggyamu obukyafu n’obuwuka, Ggyako ennyama y’eky’ennyanja etalimu magumba oba yabuluza eky’ennyanja okuggyamu eby’omunda ebirimu obuwuka obusirikitu n’ ebyanguya okutta emmere mu mubiri. Okwongerezaako, kaza bulungi eky’ennyanja, teekako omunnyo okusobola okuggyako amazzi n’okukomya omulimu gw’obuwuka obusirikitu. Era kalirira, siika, kiteeke mu firigi okusobola okutta ebyanguya okukuba emmere mu mubiri n’obuwuka obusirikitu. Ekirala weewala okusula eby’ennyanja oba okubikanyuga era obiteeke wala n’ebifo ebikyafu. Ekifo era webasunsulira eby’ennyanja kirina okuba nga tekirizibwamu bantu okuziyiza eby’ennyanja okwonooneka.
Kakasa nti ensiko ogisaye okuliraana ‘ekifo awasunsulibwa okuziyiza ensowera ezisaasaanya obuwuka obusirikitu era yonja ebikozesebwa mu kusunsula. Asunsula eby’ennyanja naye alina okuba nga muyonjo. N’ekisembayo tereka bulungi ebivudde mu ky’ennyanja era tokozesa ddagala litta biwuka oba bitonde ku by’ennyanja naddala ku mutendera gw’okusunsula.
Okupakira n’okutereka
Ebiteerekebwamu eby’ennyanja birina okuba ebiyonjo atenga bituuse okukozesebwa. Era kakasa nti okwata bulungi eby’ennyanja n’obwegendereza era weewale okubipakira ennyo. Okwongerezaako, lamba bulungi eby’ennyanja ebipakiddwa osobola okusikiriza abaguzi. Tereka eby’ennyanja mu bbikoosi eby’embaawo, ebiyisa obulungi n’okufulumya empewo, ebitatuukakibwa nkuba era obitereke bireme kwonooneka. Okwongerezaako, kakasa nti otunda eby’ennyanja byewa sooka okutereka okwewala okufirizibwa.
Okusunsula okwongeddwako mutindo
Bulijjo kaliranga eby’ennyanja nga weyambisa amafuta amatuufu okusobola okutta obuwuka obusirikitu n’okuziyiza ekisu ekibi mwebyo ebivuddemu. Omukka ogukozesebwa mu kukalira eby’ennyanja gulina okusengejjebwa nga oyongedde ku buwanvu wogenda okukalirira eby’ennyanja , weewale okukalira eby’ennyanja mu budde obw’ebbugumu n’okuyonja ebikozeseddwa mu kukalirira okusobola okukuuma omutindo gw’eby’ennyanja. Okwongerezaako, ziyiza amasavu g’eky’ennyanja okutonya mu muliro nga oyokya kuba kino kiviraako omukka okuba omungi n’ekikendeeza omutindo gw’eky’ennyanja.
Bulijjo nga okalirira eby’ennyanja kozesa miti,ebisigalira okuva ew’omubazzi atera osike eby’ennyanja nga okozesa buto omuyonjo okusobola okufuna eby’ennyanja ebiri ku mutindo era kireme na kwonooneka mu ngeri eyo. Ateera ziyiza ebivudde mu by’ennyanja okugendako ettaka, kaza eby’ennyanja ku bintu ebiwanikiddwa obulungi nga bw’obikyusakyusa n’okugattako omunnyo okuziyiza emirimu gy’obuwuka obusirikitu.