Envuba enungi ey’ebyenyanja eri abavubi

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=qzhZGeGlw3c

Ebbanga: 

00:15:22

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2013

Ensibuko / Omuwandiisi: 

SmartFish
« Pulojekiti ya Smartfishwamu ne CVF ne FAO-IGAD Fish Trade Project bakuletedde: ebyenyanja ebiyonjo, obulamu obulungi, Olutambi olusomesa ku nvuba entuufu, okulongoosa nokufumba eri abakola mu byenyanja kwosa ababirya.«

Ebyenyanja ebivubidwa byononeka olwokukwatibwa obuwuka bu bacteria kwosa enzymes, naye nga oyita mu kukola ebituufu mu kuvuma nebwoba omaze okufirwa kusobola okukendeera. 

Ate era okukwata barafu obulungi, kozesa kilo 1 eya baraffu ku buli kilo ya byenyanja, wabula barafu alina okuba owomutindo, nga muyonjo era nga mutonotono okuva mubesigika. Okugatako bwoba otekako omunnyo kozesa kilo 3 ez’omunnyo mu kilo 100 ez’ebyenyanja. 

Bwoba ovuba

Tandika nga osika akatimba mu mazzi mangu wewale okusiga ebyenyanja obuwuka bwa bacteria ne enzymes. Era ogye ebyenyanja mu katimba nga wegendereza, obikumire mu kalobo akayonjo era wewale okusuula ebyenyanja wansi ku ttaka. Okugattako wewale okutuusa obulabe, okusuula, okukasuka wamu nokulinya ku byenyanja. Bwomala nga omaze okuvuba, mangu ago ebyenyanja biteeke mu barafu oba okozese olugoye olubisi nga luyonjo obisibemu okubitangira obuwuka n’ebbugumu. 
Okwongerako, kakasa nti okozesa ekisero ky’ebyenyanja ekiyonjo okukuuma ebyenyanja okuva eri enfuufu nokukosebwa. Kakasa nga nti buli lukwata olwawula okwewala okusasanya obuwuka . Bino era bitekebwamu omunnyo okuyimiriza bacteria  nokukuuma omutindo. Ekisembayo twala enyenyanja ku lubalama nga omaze okuvuba okwewala enzyme ne bacteria okubikwata. 

Nga omaze okuvuba

Tambulizanga ebyenyanja mu bisero ebiyonjo okubikuuma obutakosebwa wamu n’enfuufu era bino bitekebwa mu kisikirize okubikuuma okwononeka. Ekisemabayo, kumira ebyenyanja mu baraffu oba obobike mu lugoye oluyonjo nga lubisi era bino olina obitunda mangu ddala nga bwosobola. 

Okukuuma ebyenyanja nga biyonjo

Kakasa nti oyoza ebyenyanja mu mazzi amayonjo okusobola okugyako obuwuka n’obukyafu era nawe wekuume nga oli muyonjo okwewala okukyafuwaza amazzi g’ebyenyanaja. Okugatako, eryato erivuba likuume nga liyonjo nga olyoza, olisiige langi okwewala okukyafuwaza ebyenyabja nekisembayo okukozesa ebivuba ebiyonjo. 
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0002:16Ebikolebwa mu kukuuma omutindo n'obuyonjo bw'ebyenyanja.
02:1703:01Okugya akatima mumazzi mu budde, okukozesa giya entuufu wamu nenvuba entuufu.
03:0203:44Nobwegendereza gya ebyenyanja mu katimba, obikumire mu mukebe omuyonjo era wewale okubikasuka
03:4504:44wewale okutuusa obulabe, okusuula, okukasuka wamu nokulinya ku byenyanja. Bwomala nga omaze okuvuba, mangu ago ebyenyanja biteeke mu barafu.
04:4505:46Ebyenyanja bizinge mu lugoye oluyonjo nga lubisi mu kisero ekiyonjo era okaze obuyamba bwokute nga obwawude.
05:4707:01Mangu ago obuyamba butekemu omunnyo otwale ebyenyanja ku lubalama nga wakamala okuvuba.
07:0209:02Ebyenyanja bitambulize mu biseero ebiyonjo, obikumire wansi mu kisikirize era obitunde mangu ddala.
09:0310:50Ebyenyanja byoze mu mazzi amyonjo, weyonje, wewale okukyafuwaza amazi agooza ebyenyanja.
10:5112:33 Kuuma amato agavuba nga mayonjo, ogasiige era okozese ebivuba ebiyonjo.
12:3415:22mubufunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *