Ebyenyanja ebivubidwa byononeka olwokukwatibwa obuwuka bu bacteria kwosa enzymes, naye nga oyita mu kukola ebituufu mu kuvuma nebwoba omaze okufirwa kusobola okukendeera.
Ate era okukwata barafu obulungi, kozesa kilo 1 eya baraffu ku buli kilo ya byenyanja, wabula barafu alina okuba owomutindo, nga muyonjo era nga mutonotono okuva mubesigika. Okugatako bwoba otekako omunnyo kozesa kilo 3 ez’omunnyo mu kilo 100 ez’ebyenyanja.
Bwoba ovuba
Tandika nga osika akatimba mu mazzi mangu wewale okusiga ebyenyanja obuwuka bwa bacteria ne enzymes. Era ogye ebyenyanja mu katimba nga wegendereza, obikumire mu kalobo akayonjo era wewale okusuula ebyenyanja wansi ku ttaka. Okugattako wewale okutuusa obulabe, okusuula, okukasuka wamu nokulinya ku byenyanja. Bwomala nga omaze okuvuba, mangu ago ebyenyanja biteeke mu barafu oba okozese olugoye olubisi nga luyonjo obisibemu okubitangira obuwuka n’ebbugumu.
Okwongerako, kakasa nti okozesa ekisero ky’ebyenyanja ekiyonjo okukuuma ebyenyanja okuva eri enfuufu nokukosebwa. Kakasa nga nti buli lukwata olwawula okwewala okusasanya obuwuka . Bino era bitekebwamu omunnyo okuyimiriza bacteria nokukuuma omutindo. Ekisembayo twala enyenyanja ku lubalama nga omaze okuvuba okwewala enzyme ne bacteria okubikwata.
Nga omaze okuvuba
Tambulizanga ebyenyanja mu bisero ebiyonjo okubikuuma obutakosebwa wamu n’enfuufu era bino bitekebwa mu kisikirize okubikuuma okwononeka. Ekisemabayo, kumira ebyenyanja mu baraffu oba obobike mu lugoye oluyonjo nga lubisi era bino olina obitunda mangu ddala nga bwosobola.
Okukuuma ebyenyanja nga biyonjo
Kakasa nti oyoza ebyenyanja mu mazzi amayonjo okusobola okugyako obuwuka n’obukyafu era nawe wekuume nga oli muyonjo okwewala okukyafuwaza amazzi g’ebyenyanaja. Okugatako, eryato erivuba likuume nga liyonjo nga olyoza, olisiige langi okwewala okukyafuwaza ebyenyabja nekisembayo okukozesa ebivuba ebiyonjo.