Kawumpuli bwebumu kubulwadde obusinga okulabika era obw’omutawaana mu binyonyi obw’etaaga okutangira okusobola okukendeeza ku kufiirizibwa.
Kawumpuli bulwadde obuleetebwa obuwuka obusirikitu obuyitibwa virus era nga bukwaata omuwendo gw’ebinyonyi ebisinga nga enkoko, embaata, ssekoko n’embaata kabuzi. Nga enddwade endala zonna eziretebwa obuwuka obusirikitu obwa virus, Kawumpuli asobola okugemebwa naye ate tewali ddagala livumula kawumpuli. Eddagala erigema liyinza nalyo obutayamba bulungi singa ligaana okukola.
Obubonero obulabika n’obutalabika
Obubonero obusinga okulabikako bwebwo obukw’atagana n’okussa kw’ebinyonyi era kiviirako okufa okw’amangu, okugwebwaamu amaanyi, okuyongobera, ekiddukano eky’akiragala, okuzimba kw’obweenyi, okweweta kw’ensingo, okukalambala kw’amagulu’ enkoko ezibiika ziyinza okutandika okubiika amagi okutali kisusunku oba agalina ekisusunku ekigonda era n’omuwendo gw’amagi gukendeela.
Obubonero buno bufaanagana n’obwekirwadde kya avian influenza n’olweekyo okubukebera okukakasa obulwadde ky’etagisa.Obubonero obusinga okulabikako kwekuba nga enkoko etandika okuteeka omutwe gwaayo wakati mu maggulu gaayo era netandika okwetoloola.
Obujjanjjabi obukoledwa awaka
Obutungulu nekatungulu cumu bisalibwasalibwa mubutundu obbusembayo okubeera obutono enyo era nebitabulwa mukataasa akanene. Ejiiko entonotono ez’omubisi gw’enjuki zigattibwaamu era ebitabuddwa nebiteekebwa mukifo empewo wetambulira obulungi okuyita mukiro nga bwekituuka okukozesebwa kumakya. Ebitabuddwa bino biyina okuweebwa enkoko omulundi gumu buli lunnaku okumala ennaku kumi.
Eddagala eddala lisobola okukolebwa mu kimera ekiyitibwa oregano, enniimu ne rosemary. Bino bitabulwa nga onyise rosemary ne oregano mumazzi ag’okya buli kimu kyokka nga okozesa obungi bwamazzi ag’okya bwa 250mls. Gattamu egiiko emu ey’ebikoola bya oregano ne rosemary era obireke bitokote okumala eddakiika 2. Byombi bitabikire mukalobo akanene era okamuliremu omubisi okuva mu nniimu 4 ku 5. Osobola n’okugattamu omubisi gw’enjuki. Kasita ebigattiddwa bibeeranga bitabuddwa bulungi, tabula ebigattiddwa mumazzi gabipimo bya 150mls buli lita y’amazzi era owe ebinyonyi.
Enziyiza y’aKawumpuli
Kawumpuli asobola okuziyizibwa okuyita mukukakasa nti ebinyonyi by’ogula bigemeddwa eri Kawumpuli, ebinyoyi biwe ekirungo ky’ekiriisa kya vitamin buli kiseera, yawula ebinyonyi ebirwadde ate era olongoose enyumba y’ebinyonyi buli kiseera. Ate era yokya oba oziike ebibyonyi ebifa Kawumpuli.