Okujjanjjaba kawumpuli ngaweyambisa obutonde

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=QcgQbUa2JwE

Ebbanga: 

00:05:27

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2021

Ensibuko / Omuwandiisi: 

AGRIBUSINESS INSIDER
»Mukatami kano, njagala kwogera kubulwadde bwa kawumpuli munkoko, ki kyebuli era osobola kubuziyiza otya. Njakubanga njogera nekuddagala ery'enjawulo eey'obutonde erijjanjjaba kawumpuli mu binyonyi ebikuumirwa awaka.«
Kawumpuli bwebumu kubulwadde  obusinga okulabika era obw’omutawaana mu binyonyi obw’etaaga okutangira okusobola okukendeeza ku kufiirizibwa.
Kawumpuli bulwadde obuleetebwa obuwuka obusirikitu obuyitibwa virus era nga bukwaata omuwendo gw’ebinyonyi ebisinga nga enkoko, embaata, ssekoko n’embaata kabuzi. Nga enddwade endala zonna eziretebwa obuwuka obusirikitu obwa virus, Kawumpuli asobola okugemebwa naye ate tewali ddagala livumula kawumpuli. Eddagala erigema liyinza nalyo obutayamba bulungi singa ligaana okukola.

Obubonero obulabika n’obutalabika

Obubonero obusinga okulabikako bwebwo obukw’atagana n’okussa kw’ebinyonyi era kiviirako okufa okw’amangu, okugwebwaamu amaanyi, okuyongobera, ekiddukano eky’akiragala, okuzimba kw’obweenyi, okweweta kw’ensingo, okukalambala kw’amagulu’ enkoko ezibiika ziyinza okutandika okubiika amagi okutali kisusunku oba agalina ekisusunku ekigonda era n’omuwendo gw’amagi gukendeela.
Obubonero buno bufaanagana n’obwekirwadde kya avian influenza n’olweekyo okubukebera okukakasa obulwadde ky’etagisa.Obubonero obusinga okulabikako kwekuba nga enkoko etandika okuteeka omutwe gwaayo wakati mu maggulu gaayo era netandika okwetoloola.

Obujjanjjabi obukoledwa awaka

Obutungulu nekatungulu cumu bisalibwasalibwa mubutundu obbusembayo okubeera obutono enyo era nebitabulwa mukataasa akanene. Ejiiko entonotono ez’omubisi gw’enjuki zigattibwaamu era ebitabuddwa nebiteekebwa mukifo empewo wetambulira obulungi okuyita mukiro nga bwekituuka okukozesebwa kumakya.  Ebitabuddwa bino biyina okuweebwa enkoko omulundi gumu buli lunnaku okumala ennaku kumi.
Eddagala eddala lisobola okukolebwa mu kimera ekiyitibwa oregano, enniimu ne rosemary. Bino bitabulwa nga onyise rosemary ne oregano mumazzi ag’okya buli kimu kyokka nga okozesa obungi bwamazzi ag’okya bwa 250mls. Gattamu egiiko emu ey’ebikoola bya oregano ne rosemary era obireke bitokote okumala eddakiika 2. Byombi bitabikire mukalobo akanene era okamuliremu omubisi okuva mu nniimu 4 ku 5. Osobola n’okugattamu omubisi gw’enjuki. Kasita ebigattiddwa bibeeranga bitabuddwa bulungi, tabula ebigattiddwa mumazzi gabipimo bya 150mls buli lita y’amazzi era owe ebinyonyi.
 

Enziyiza y’aKawumpuli

Kawumpuli asobola okuziyizibwa okuyita mukukakasa nti ebinyonyi by’ogula bigemeddwa eri Kawumpuli, ebinyoyi biwe ekirungo ky’ekiriisa kya vitamin buli kiseera, yawula ebinyonyi ebirwadde ate era olongoose enyumba y’ebinyonyi buli kiseera. Ate era yokya oba oziike ebibyonyi ebifa Kawumpuli.
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:44Obulwadde bwa Kawumpuli buleetebwa buwuka obusirikitu obuyitibwa virus era nga bukwaata ebinyoonyi ebisinga obungi ebikuumirwa awaka.
00:4501:33Obubonero obulabika n'obutalabika obw'aKawumpuli.
01:3401:54Obubonero obulabika obw'aKawumpuli bufaanagana n'obwo obw'ekirwadde kya avian influenza. Okukebera kw'etagibwa okukakasa ekirwadde.
01:5503:08Eddagala ery'obutonde erya Kawumpuli lisobola okukolebwa mu butungulu wamu nekatungulu cumu.
03:0904:35Eddagala eddala lisobola okukolebwa mu kimera kya oregano, ennniimu ne resemary.
04:3605:20Engeri z'okuziyizaamu obulwadde bwa Kawumpuli.
05:2105:27Mukumaliriza

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *