Ebikolwa ebikolebwa mu kwewala obulwadde ku faamu y’ebyennyanja bigendererwa kukuuma faamu ya byennyanja obutalumbibwa buwuka butono obw’obulabe obuyinza okuviirako ebyennyanja okufa ekintu ekireeta okufiirizibwa.
Enkozesa ennungi ey’ebikolwa ebikolebwa okwewala obulwadde kiyamba okwewala okufiirizibwa okuvva ku bulamu bw’ebyennyanja.Enkwata y’abantu ku faamu kyamugaso nnyo mu kugikuuma okuva eri endwadde.Ebiseera ebisiinga okozesa enkola eziyamba okwewala endwadde kyongera ku magoba g’ofuna okuva mu faamu.
Enkwata y’abantu
Okusookera ddala abagennyi balina okusooka okunaaba n’okukyusa engoye nga tebanagenda ku faamu okusobola okuziyiza entambuza y’obulwadde okuvva gye baba bavudde.Era n’abagenyi abava wabweru w’amawanga balina okusooka okwekebejjebwa kuba banno baba n’omukisa gw’amannyi mu kutambuza endwadde okuvva ku faamu emu okudda kundala.Mukwongerako,wekkaannye obuyonjjo bw’abagennyi nga tonabakiriza kugenda ku faamu.
Bulijjo kugira abagennyi okugya n’ebisolo bye balundira awaka kubanga bisobola okutambuza obuwuka obw’obulabe obuleeta endwadde era n’abagennyi balina okusooka okutegeeza ku lunaku lwe banakyala ku faamu kisobozese abalabirira faamu okutegeka ebikozesebwa mu ku kuuma obuyonjo ku faamu. Mu kusembayo,Kakkasa nti abagennyi ku faamu bagoberera amateeka agateekebwa wo agafuga faamu.