Engeri y’okusikiriza enjuki okuyingira omuzinga ogukolebwa mu muzinga omunaansi

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=KbErNWTCjyM

Ebbanga: 

15:45:00

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2022

Ensibuko / Omuwandiisi: 

TUNADO
Emizinga gyabika bya njawulo naye mu ngeri eya bulijjo, abantu bekolera emizinga naddala mu byalo era gino gikozesebwa okukwata enjuki wamu n'okuzirunda.

Nga tonatega muzinga gwo omunnansi, wetaaga okukakasa nti tegulimu biwuka. Okusobola okukakasa nti temuli biwuka oba okugobamu ebiyinza okubaamu, sima akanya akatono mu ttaka mu kifo ekisanide era otekeme omuddo omukalu mu kitulu. Kuma omuliro era otekemu obusa bw’ente obukalu ku muliro okukuuma omuliro nga gwaka okumala ebbanga. 

Okugyamu ebiwuka

Teka envumbo y’enjuki, ebisu wamu ne proplis ku muliro okuwunyisa omuka obulungi eri enjuki. Tekateka omuzinga gubike omuliro okulaba  nga omuka oguva ku muliro guyita mu muzinga era obike awali ekituli nga okozesa obusa olekewo mulyango gwoka. Kino kijja kugoba ebiwuka byona ebiri mu muzinga. 
Siba ebyaayi okwetoloola omuzinga okugukuuma okuva eri enkuba kubanga emizinga eminansi gisumbuyibwa nnyo enkuba. 

Okukwata enjuki mu mizinga eminaansi

Sanuusa envumbo ne propolis era obisiige mu muzinga nga okozesa bulashi. Osobola okukikola buli wiiki paka nga enjuki zizinze  omuzinga. 
Siba ebyaayi wansi w’omuzinga omunansi olwo osiige ekisanikira n’obusa bw’ente okwewala ebiwuka okuyingira mu muzinga. 
Buli mulundi gwowakula omubisi okuva mu muzinga omunansi, wetaaga okuzangako obusa bw’ente ku kisanikira kyogyako nga ogusanukula.
Nga omaze okugusiga n’envumbo, guwanike ogusibe ku muti wezisinga okweyunira nga zisenguka. 
Nga omaze okusibayo omuzingabgwo, kakasa nti ogukeberako okulaba oba gwazingibwa enjuki. 
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0003:50Gobamu ebiwuka ebiri mu muzinga
03:5104:30Zibikira ebituli byona ku muzinga nga okozesa obusa bw'ente.
04:3105:45Omuzinga gwo gutegese envumbo eva ku njuki ne propolis
05:4612:05Zingirira ebyayi okwetoloza omuzinga okutangira enkuba
12:0614:15Zibikira wansi w'omuzinga
14:1615:45Omuzinga guwanike ku muti mu kifo ekisanide.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *