Nga tonatega muzinga gwo omunnansi, wetaaga okukakasa nti tegulimu biwuka. Okusobola okukakasa nti temuli biwuka oba okugobamu ebiyinza okubaamu, sima akanya akatono mu ttaka mu kifo ekisanide era otekeme omuddo omukalu mu kitulu. Kuma omuliro era otekemu obusa bw’ente obukalu ku muliro okukuuma omuliro nga gwaka okumala ebbanga.
Okugyamu ebiwuka
Teka envumbo y’enjuki, ebisu wamu ne proplis ku muliro okuwunyisa omuka obulungi eri enjuki. Tekateka omuzinga gubike omuliro okulaba nga omuka oguva ku muliro guyita mu muzinga era obike awali ekituli nga okozesa obusa olekewo mulyango gwoka. Kino kijja kugoba ebiwuka byona ebiri mu muzinga.
Siba ebyaayi okwetoloola omuzinga okugukuuma okuva eri enkuba kubanga emizinga eminansi gisumbuyibwa nnyo enkuba.
Okukwata enjuki mu mizinga eminaansi
Sanuusa envumbo ne propolis era obisiige mu muzinga nga okozesa bulashi. Osobola okukikola buli wiiki paka nga enjuki zizinze omuzinga.
Siba ebyaayi wansi w’omuzinga omunansi olwo osiige ekisanikira n’obusa bw’ente okwewala ebiwuka okuyingira mu muzinga.
Buli mulundi gwowakula omubisi okuva mu muzinga omunansi, wetaaga okuzangako obusa bw’ente ku kisanikira kyogyako nga ogusanukula.
Nga omaze okugusiga n’envumbo, guwanike ogusibe ku muti wezisinga okweyunira nga zisenguka.
Nga omaze okusibayo omuzingabgwo, kakasa nti ogukeberako okulaba oba gwazingibwa enjuki.