Kya bulijjo okubeera n’ebyenyanja ebitenkanankana bunene nga bikulira ku misinde gya njawulo wadde nga obwana bwagulibwa omilundi gumu okuva awantu wamu era nga biyisibwa mu mbeera zezimu mu ngeri y’embeera mwebikulira saako n’emere naye kino kisobola okukendezebwa akatono.
Ekikireeta saako n’endabirira
Okufutiika ennyo ebyenyanja kibiretera ekkabyo olwo enkula y’ebyenyanja neba nga yanjawulo nolwekyo wetaaga okusitokinga ebidiba mu butuufu bwabyo.
Empeke z’emere. Okuwa ebyenyanja emere nga nene okusinga obunene bweyetaaga kivirako ebyenyanja ebinene byoka okulya nebikula nga obutono bwo tebulya era kino kivirako obutenkanankana mu byenyanja nolwekyo ebyenyanja biriise emere ey’empeke esanide.
obutaba na nsengeka nungi. Kikolebwa nnyo nti abalunzi abasinga tebawula byenyanja byabwe era babireka nebikulira mu kidiba kimu paka lwebabivuba. Ebiseera ebisinga ebyenyanja tebikulira kumu era bwotabyawula , enjawulo mu bunene ebeera nene nnyo.
omutindo gw’emere. Emere gyolisa ebyenyanja byo bweba terimu birungo byamugaso ebikuza, enkula y’ebyenyanja ejja kuba teyenkanankana.
Endabirira ya faamu. Amagezi agamala ku ndabirira ya faamu gajja kuyamba okukendeeza ku butenkanankana mu byenyanja.
Ekika ky’ebyenyanja. Bwogula olulyo olubi olw’ebyenyanja obutenkanankana mu byo bujja kuba waggulu.