Engeri y’okwewala ebyenyanja ebitenkanankana nga olunda semutundu

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=7pQCGpCWMGQ

Ebbanga: 

09:36:00

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2021

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Catfish Farm Enterprise
Ebiseera ebisinga abantu abalunda ebyenyanja babifuna nga bikulira ku misinde gya njawulo ekibivirako obutenkananka nebwebiba nga byagulibwa omulundi gumu olunaku lumu.

Kya bulijjo okubeera n’ebyenyanja ebitenkanankana bunene nga bikulira ku misinde gya njawulo wadde nga obwana bwagulibwa omilundi gumu okuva awantu wamu  era nga biyisibwa mu mbeera zezimu mu ngeri y’embeera mwebikulira saako n’emere  naye kino kisobola okukendezebwa akatono. 

Ekikireeta saako n’endabirira

Okufutiika ennyo ebyenyanja kibiretera ekkabyo olwo enkula y’ebyenyanja neba nga yanjawulo nolwekyo wetaaga okusitokinga ebidiba mu butuufu bwabyo. 
Empeke z’emere. Okuwa ebyenyanja  emere nga nene okusinga obunene bweyetaaga kivirako ebyenyanja ebinene byoka okulya  nebikula nga obutono bwo tebulya era kino kivirako obutenkanankana  mu byenyanja  nolwekyo ebyenyanja biriise emere ey’empeke esanide. 
obutaba na nsengeka nungi. Kikolebwa nnyo nti abalunzi abasinga tebawula byenyanja byabwe era babireka nebikulira mu kidiba kimu paka lwebabivuba. Ebiseera ebisinga ebyenyanja tebikulira kumu  era bwotabyawula , enjawulo mu bunene ebeera nene nnyo. 
omutindo gw’emere. Emere gyolisa ebyenyanja byo bweba terimu birungo byamugaso ebikuza, enkula y’ebyenyanja ejja kuba teyenkanankana. 
Endabirira ya faamu. Amagezi agamala ku ndabirira ya faamu gajja kuyamba okukendeeza ku butenkanankana mu byenyanja. 
Ekika ky’ebyenyanja. Bwogula olulyo olubi olw’ebyenyanja obutenkanankana mu byo bujja kuba waggulu. 
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0003:15Wajja kubangawo enjawulo mu biunene bw'ebyenyanja naye kino kisoboka okukendezebwa.
03:1604:40okufutiika ennyo kuletera obutakulira ku bunene bumu mu kidiba.
04:4106:40Ebyenyanja biriise emere nga empeke esanide okusinzira ku bunene bw'ekyenyanja.
06:4107:20Yawula ebyenyanja okwewala obutenkanankana.
07:2108:10omutindo gw'emere kukosa obunene bw'ebyenyanja.
08:1108:55Amagezi ku ndabirira ya faamukikulu mu kufuna ebyenyanja ebyenkanankana.
08:5609:20Olulyo lw'ebyenyanja olubi luvirako okukula nga tebyenkana.
09:2109:36Okufundikira

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *