Waliwo ebisokerwako abalunzi b’enjuki byebetaaga okumanya nga batandika okunda enjuki.
Nga tonatandika ku lunda njuki, londa ekifo eky’omusetwe ekikalu nga osobola okukitukako buli kadde okuyita mu mwaka woba ossa emisinga gyo. Bwoba osaayo emizinga, kakasa nti omulyango tegutunude mu kubo, mu balirwana oba awaka wo sako n’ebisolo byawaka webizanyira’ Osobola okusaayo omuzinga gwo nga gutunudde mu lukomera era enjuki ziyiga mangu okubuuka okusala waggulu w’ekifo.
Okusibayo omuzinga
Osobala okuteeka omuzinga gwo wansi ddala ku ttaka oba ku kintu ekisitufu naye nga kyegolodde okugeza olubawo. Awantu awasitufu wagalibwa nnyo kubanga wakuuma ento y’omuzinga nga tekosebwa era nekigiziyiza okuvunda. Nga osinzira ku mbeera y’obudde wamu nokuberawo kw’obuwunga mu bimuli, osobola okusawo ekirirwamu okumpi n’omuzinga okuyambako enjuki empya okuzimba amangu. Ebirirwamu osobola okubisamu sirapu ya sukaali nga ekolebwa otabudde sukaali owobutonde mu mazzi mu bipimo bya 1:1.
Ku ngulu, Tuzaako obusenge bw’omuzinga bibiri. Mu busenge buno nabakyala mwabiika amaggi agafuuka ekivunyu, ekiwuka oba enjuki ento, byona nga biyitibwa njuki (brood).
Keberanga obusenge okakase nti biramu era enjuki bwezijula mu busenge/brood n’ebiwuka oba omubisis paka ku 85%, olwo osobola okwongerako akasenge akokusatu.
Okusobola okukumira nabakyala mu busenge, tekamu ekyawula nabakyala ku ngulu omuzikirwa. Otekemu akaloddo k’omubisis, oyalemu akabika munda era ekisambayo obike omuzinga okuva eri enkuba n’omuzira.