Amapapaali gamanyiira mangu ebifo eby’etale n’ebyolukalu. Galimibwa nnyo kulwemigaso egy’eddagala, n’ebirungo eby’omubiri, gakomyawo sente mangu ate nga getaaga ettaka tonotono.
Mukukula getaaga ettaka lya lunyo (pH) wakati wa 5.5 ku 7.0, ebbugumu lya 21^C wabula ettaka ely’ebbumba lidiriza enkula yaago nolwekyo ettaka ely’etale n’elyolusenyusenyu lyerisiinga okuba erisaniide. Naye era amapapaali gakosebwa endwadde nyinji okugeza (powdery mildew, Odium caricae, anthracnose), kiwotoka, okuvunda enduli, root knot nematode. ate era nga n’ebibala biba bikuze singa amasanda gaago gafuuka g’amazzi nolwekyo owabulibwa okugakungula mu saawa ez’okumakya.
Enima
Sooka ogogole enimiro ogyemu amazzi agalegamidde, olwo okabale okole beedi (obulimiro) yabugazi bwa 2m, nga nsitufu 20cm ku 25cm era olekewo 30 wakatio wa beedi (obulimiro)
Ekyokubiri, simba ensingo mu buveera bwa buwanvu 10cm nga buli mu layini nga obuwadde amabanga ga 3cm ku 4cm , olwo osimbemu ensigo 2 ku 3 wabula bwezimeruka, olekamu emu 1 okwewala okulwanagana.
Okwongerako, simbuliza kuntandikwa y’enkuba nga osima ebinya by 60cm ku 60cm ku 60 era nga byeyawudde mita bbiri (2m).
Wabula nga wabula enaku 15 okusimbuliz, tabula ettaka n’ebigimusa okusobola okuligimusa era olekewo 50cm munkuubo okwanguyiza amazzi okutambula/okukulukuta.
. Awo otekemu ebigimusa eby’obutonde nebirongoosemu nga obitabudde nga obyetolooza emiti mu bipimo bya 150g urea, 250gphosphate, 75g potash wamu ne 20kg ez’obusa bw’ente okusobola okukula obulungi.
Era fukirira nga wayise enaku 10 ku 20 mu biseera byobunyogovu ate enaku 6 ku 7 mu biseera by’ekyeeya(omusana) okwewala okuwotoka era otememu olulimi lw’omuti guleme kuwanvuyirira.
Okwongera kekyo, ku buli miti 15 bemikazi, kumiramu omuti gumu omusajja, era olwanyise endwadde ezimanyikidwa okukendeeza ku kufirwa.
Nekisembayo, jamu omuddo ate tokabala nnyo, beera nga okozesa eddagala ly’omuddo eriguziyiza okumera okwewala okukosa emirandira egikulira kungulu.