Ku faamu y‘enkoko okwekuuma mu buyonjo kikulu nnyo mu kuziyiza oba mu nkwata y‘obulwadde .
Okubeera omulimi omukukunavu, waliwo ebintu bisatu by‘olina okusaako essiraera nga mu bino mulimu; okwekuuma obuyonjo, okukuuma enteekateeka y‘okugemesa etuukiridde n‘eddiisa eyomulembe. okwekuuma mu buyonjo kutwaliramu ebintu byonna byokola ku faamu okuziyiza olwebeeya lw‘ebinyonyi byo obubeera nga bikwatibwa obulwadde era kino okubalukawo kw‘obulwadde era n‘okukola amagoba amangi kubanga singa waliwo okubaluka kw‘obulwadde ku faamu yo n‘okufa kw‘enkokozo oba oli mukufiirizibwa.
Engeri y‘okwekuuma/okutangiramu obulwadde ngoyita mukola z‘obutonde
Ekimu ku bintu by‘okwekuuma ku faamu bwe buyonjo. olina okulaba g‘okuuma omutindo gw‘obuyonjo ogwa waggulu ggwe wennyini, akabozi n‘ebintu byonna ebiri ku faamu. laba nga buli muntu ajja ku faama muyonjo era ekisinga kwekuba n‘engoye ez‘enjawulo z‘oyambala ng‘oli ku faamu okwewala okuleeta obulwadde ku faamu.
Wala nti olina wonnyika ebigere mu mazzi n‘eddagala eritta obuwuka nga buli muntu ayingira ku faamu alina wannyika ebigere..
Kuuma okutambula/ okukyala ku faamu ng‘oziyiza okuyingira ku faamu. Funa ekifo w‘otundiraokugeza nga ku geeti okuziyiza bakasitoma okujja ku faamu nga beefudde abazze okugula.
Sibira enkoko empya ezakaleetebwa mu kifo kimu okusobola okwekaliriza obubonero bw‘obulwadde nga tonazigatta n‘ezo ezibaddewo.
Yawula enkoko eddwadde okusobola okuziyiza okusaasaana kw‘obulwadde okuva ku nkoko eddwadde okukwata ennamu.