»Ebibiina byabakozesa amazzi«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.accessagriculture.org/water-users-associations.

Ebbanga: 

00:07:43

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2016

Ensibuko / Omuwandiisi: 

WOCAT
»Mu kenya, WRUA yasooka kukolebwa mumyaka gya 1990. Ebibiina bino bikolebwa mubitundu ebiriraanye emigga n‘okuwa obweyamo ku kwetaba mu kwa bammemba mukusalawo kungeri y‘okulabirira ku nkozesa yamazzi g‘omugga.«

Water resource users association (WRUA) bikolebwa abeeyambisa amazzi n‘ebannannyini ttaka kumbalama z‘emigga.

Ebibiina bino bikolebwa okulabirira n‘okukuuma ebifo ebivaamu amazzi ebikozesebwa. Ebigendererwa byabyo ebikulu kwekukendeeza obukuubagano obuva ku mazzi, okukakasa nti amazzi agakozesebwa wegali n‘okukuuma obutonde obwetolodde omugga obumanyidwa nga riparian zones.

Enkola yaabyo

Mu kenya WRUA byasooka okutandikiriza okukolebwa mu myaka gya 1990. Byakolebwa mu bitundu ebyetoloodde emigga okuwa obukakafu bammemba babyo bonna abeetaba mu biteeso ebisalawo ku kulabirira n‘engeri ey‘okweyambisaamu amazzi g‘omugga.

Okusalawo ku bukubagano

Okukaanya ku bitukibwako okuyita mu nkozesa eyekyenkanyi eyaabo abali ewala nabo abali ku mugga. Ebitundu 70% ebyebifo ebivaamu amazzi byeyambisibwa ssonga ebitundu 30% birekerwa ettaka n‘obutonde obwetoloodde omugga. Ettaka eryetoloodde omugga liweebwa ekitibwa singa abantu basomesebwa engeri y‘okukuuma endokwa ezimera muttaka eryetolooddwa omugga.

Okukuuma oluzzi lw‘omudumo kikolebwa nga bazimba ekisenge okwetoloola oluzzi okukwata mukoka n‘okubumbuluka kwettaka. Obumanyirivu bulaga nti okukkaanya mu bitundu yenkola yokka esinga esobola okumalawo obukubagano.

Ebirungi bya WRUA

WRUA essaawo engabanya ya mazzi ey‘ekyenkanyi mubagakozesa ate natumbula enkola z‘okukuuma n‘okulabirira ettaka namazzi.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:25Ebibiina byabeeyambisa ebifo omuva amazzi, bikolebwa abakozesa bamazzi, nebannannyini ttaka okwetolola emigga.
00:2602:52WRUA egabanyiza enzizi n‘ebifo ebirala omuva amazzi kyenkanyi eri abantu b‘ekitundu.
02:5303:23Okutuuka kunzikaanya wakati wabakozesa amazzi abali ewala nabali okumpi n‘omugga.
03:2404:17Okutondawo obwenkanya mu bammemba bonna kubanga ebifo omuva amazzi byeyambisibwa kyenkanyi.
04:1804:32Okukuuma ebifo omuva amazzi n‘okubikugira okwetoloola omugga.
04:3305:08Okukuuma ettaka eryetoloodwa obutonde okuyita mukusomesa bammemba.
05:0905:50Okukuuma enzizi okuziyiza mukoka n‘okubumbuluka kwettaka.
05:5106:08Ebirungi by‘ebibiina bya WRUA yengabanya yamazzi ennungi okutabaganya abakozesa n‘okutumbula enkola ez‘okukuuma ettaka n‘amazzi.
06:0907:43Okuwumbawumba

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *