Ebigimusa ebikoleddwa mu butonde biba bikoleddwa mu bussa bw‘ebisolo n‘ebisigalira ku bimmera era nga binno bikolebwa mu ebintu by‘obutonde ebiwerako.Ebigimusa binno biteekebwa nnyo ku nva endiirwa n‘ebibala.
Ebigimusa ebisinga okolebwa mu baamu ekirungo kya nitrogen,ekya phosphate ne potassium.
Ebigimusa ebikolebwa mu memmere y‘ebisolo ekaziddwa kibeera mu ekirungo kya nitrogen kya kipimo 2.5 ku kikumi,ekirungo kya phosphate 1 ku kikumi,potassium kipimo kya 1.5 ku kikimi.Ebigimusa binno binnyikira mangu mu ttaka.
Ekigimusa ekivva mu bubi bw‘obuwundo (Bat guano) kibaamu ebirungo binno ;ekya nitogen kya kipimo 8 ku kikumi,phosphate ku kipimo kya 6 ku kikumi,potassium ekipimo kya 1 ku kikumi binno biteekebwa mu ttaka mpola mpola okutuusa nga bikwatagannye n‘obwetaavu bwabyo mu ttaka.Ekigimusa kinno kisinga kozesebwa mu kulima ng‘okyusakyusa ebirime,mu makati g‘amakungula oba nga oddamu okusimba ekibaddemu ekigimusa kinno kiba n‘ebirungo ebiwerako.
Ebigimusa ebikolebwa mu butonde
Ekigimusa ekikolebwa mu byennyanja kiba n‘ekirungo kya nitrogen nga kiri ku kipimo kya 9 ku buli kikumi.Era kiteekebwa mu ttaka mu bwangu era kirungi nnyo okozesebwa mu biseera nga muttaka temuli kirungo kya nitrogen kimala nemubimmera nga bitandika okummera ebikoola bitumbula emmera y‘ebikoola olwo nebisobola okukula obulungi naye birimu olunnyo lutonotono.
Ebigimusa ebiva mu bisigalira mu kusunsula pampa bibaamu ekirungo kya nitrogen kya kipimo 6 kubuli kikumi,ekya phosphate 3 ku buli kikumi,ekirungo ekya n‘ekya potassium ekipimo 1 ku buli kikumi.binno biteekebwa mu ttaka ku misinde emiitonotono era kikozesebwa nnyo mu biffo ewalimibwa ppamba.
Ekigimusa ekikolebwa mu bisigalira bya kasooli bibaamu ekirungo kya nitrgen kya kipimo 0.5 ku kikumi,ekya phosphate 0.5 ku kiikumi,potassium 1 ku kikumi era kirungi mu kulongosa ettaka mu sizoni ez‘obunnyogovu.
Ebigimusa ebikolebwa mu kitengejja(sea weed),ebigimusa ebikolebwa mu bisigalira by‘enkoko ne nakavundira.
Ekitengejja(seaweed) kibaamu ekirungo kya nitrogen kya kipimo 1 ku kikumi,phosphate ku kipiimo kya 2 ku kikumu,potassium ku kipimo 5 ku kikumi.Binno biteekebwa wo mu ttaka mu bwangu.
Ekigimusa ekikolebwa mu bisigalira by‘enkoko kibaamu ekirungo kya nitrogen ku kipimo kya 3.5 ku kikumi,ekipimo kya 1.5 ku kikumi ekya phosphate,ne potassium wa kipimo kya 1.5 ku kikumi.Binno biteekebwa mu ttaka ku bwangu.
Ekigimusa ekiva mu musennyu gw‘okunnyanja ogwa kiragala(green sand) ibaamu ekirungo kya nitrogen kya kipimo 1 ku kikumi,ekya phosphate 5 ku kiikumi,ekya potassium 5 ku kikumi.Ebirungo binno biteekebwa mpolampola mu ttaka. Ekiggimusa ekiva mu nakavundira kiva n‘ekiriisa kya nitrogen kya kipimo 2 ku kikumi,ekirungo kya potassium kya kipimo kya 1.5 ku 100 ne kya phosphate kya kipimo 1.5 ku kikumi.
Ekigimusa ekiva mu Soya,ekigimusa ekikolebwa mu magumba g‘ebisolo ,n‘ebigimusa ebikolebwa mu byennyannja
Soya alimu ekirungo kya nitrogen kya kipimo kya 12 ku 100,ekirungo kya phosphate kya 11.5 ku 100 ne potassiuum ku kipimo kya 0.5 ku kikumi.Binno biteekebwa mpolampola mu ttaka.
Ekigimusa ekikolebwa mu musaayi kyanguya okuwa ettaka ekirungo kya nitrogen n‘ebirime ebirina kye bibulamu.
Ekigimusa ekiva mu magumba g‘ebisolo mulimu ekirungo kya nitrogen kya kipimo kyaa 4 ku kikumi,phosphate ku kipimo kya 20 ku kikumi,n‘ekirungo kya potassium ku kipimo kya 0.5 ku kikumi.Ebirungo binno biteekebwa mangu mu ttaka.Ekigimusa kino kikozesebwa mu ttaka ery‘etaaga ennyo okufiirwako.
Ebigimusa ebikolebwa mu byoya by‘ebinnyonnyi binno bikozesebwa nnyo nga tonasimba okusobola okusitula ettaka.
Ebigimusa ebikolebwa mu byennyanja binno biyamba okuleetawo okwenkanankana kw‘ebirungo mu ttaka