Enkozesa y‘eddagala eritta omuddo ennungi yamugaso nnyo mu kutta omuddo era n‘obutakosa bantu,bisolo n‘embeera.
Eddagala linno lya bikka 3 ku mitendera 3. Okufuuyira eddagala erikozesebwa nga tonasimba okusobola okutta omuddo oguwangaala ,okufuuyira eddagala erikozesebwa nga wakasimba ng‘ettaka liweweera okusobolaa okutta ensigo z‘omuddo oba endokwa z‘omuddo n‘eddagala erifuuyirwa nga wayiseewo wiiiki nga omazze okusimba okusobola okutta omuddo ogw‘onoona ebbirime
Okwegendereza
Nga tonafuuyira nnimiro,soma akapapula akali ku kakebe k‘eddagala osobole okumannya ekipimo ekituufu eky‘okukozesa,olunnaku weryakolebwa n‘olunnaku eddagala kwerigwerako. Era yambala eby‘okwekumisa okuli akakookolo ku nnyindo,obusabika engalo ne gambutusi.
Fuuyira ku lunnaku olwo lwoka ng‘empewo ekuunta siyammannyi era nga tewali kabonero ka nkuba konna. Eddagala lirina okufuuyirwa omuntu atendekeddwa.
Tolya,tonnywa era tofuuweeta kintu kyonna ng‘ofuuyira. Ebikozeseddwa bisuule mu kiffo ekyekusifu abantu webatasobola ku bituuka wabula woba toliinaawo,nnyumunguza emikebe emirundi essattu n‘amazzi,kafumitemu omusumaali era okaziike wansi ddala mu ttaka.
Tonywera amazzi mu mikebe ejibeeramu eddagala,okuguliramu butto oba ekintu ekirala ekiriibwa omuntu oba ekisolo.
Eby‘okussaako essira ng‘omazze okufuuyira
Ng‘omazze okufuuyira,Akafuuyira eddagala kooleze mu nnimiro gy‘ofuuyidde wabula si mu migga oba mu biffo awajjibwa amazzi. Yozza era okyuse engoye zo nga tonalya oba okunywa ekintu kyonna.
Singa wekwata mu liiso obba ku lususu, weyumunguze n‘amazzi agookya okumala eddakiika 10 ekitonno ennyo.W‘owulira kaamunguluze oba obunafu nga wakamala okufuuyira,tonnya matta oba amazzi g‘ebinazzi era tewebakka,Genda mu ddwaliro n‘akakebe akabadde mu eddagala.