Ebyenyanja biwoma nnyo, birungi eri buli kika kya muntu okugeza abaana, abakadde abavubuka kubanga bireeta amanyi.
Ekyenyanja ekyomutindo omulungi kiwomera abali nolwekyogula ekisinga. Okukitekteka obulungi kiyamba okukuuma omutindo, obulamu nekiriisa kubanga bituwa proteins ataufuula abamaanyi era abalamu. Wabula, ebyenyanja bigule awantu awayonjo nga nebikozesebwa biyonjo.
Ebirungi eiva mu byenyanja
Ebyenyanja birimu mineral nga calcium, potassium, phophorus ne magnesium ebyetagiisa omubiri okukola obulungi. Okugatako ebyenyanja birimu vitamini nga A, B, D ne E wamu ne fats mu nfanana ya Omega 3. Bino biyambaokukuuma abantu okuva eri endwadde z’omutima wamu n’obwongo okukula.
Okulonda ekyenyanja ekirungi
Kakasa nti atunda ebyenyanja muyonjo era ogule ebyenyanja ebikyali ebiramu nga amaso gamasamasa nga gali kungulu, ebiviri bimyufu bwekiba kibisi nga kigonda bwokinyigako kigonda.
Era gula ebyenyanja nga ebikaliririre nga bya kitaka ssi bidugavu. Okugattako, ebyenyanja ebikaririre birina okuba ebimenyemu nga temuli biwuka. Ku buyamba bulina okuba obuyonjo nga bumasamasa nga temuli ttaka. Ekisembayo ebyenyanja ebyomunnyo burina okuba ebya kyenvu nga temuli biwuka.
Enfuba y’ebyenyanja
Fumba nga oba otereke ebyenyanja mangu ddala. Era obike kubyenyanja ebibisi nga omaze okubigula kubanga kiyamba okukuuma ettaka n’ensowera. Okugatako, naaba engalo n’ebintu nga tonafumba by’enyanja. Gyangamu ebyenda, ebiviri era ebyenyanja ebibisi obyoze bulungi. Okwongerako, byika ebyenyanja ebikalu oba ebikaliririre mu mazzi amayonjo okukigonza n’ekisembayo ekyenyanja kirirewo nga wakamala okufumba okwewala ensowera.