Ebikolebwa oluvannyuma lw’okukungula obulo mu Uganda.

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=V_MWuVQZwNY&t=597s

Ebbanga: 

00:16:01

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2019

Ensibuko / Omuwandiisi: 

FARM MATTERS
»«

Obulo kika kya muddo ogukula okumala omwaka era busimbibwa okufuna emmere oba omwenge, obuti bw’obulo busobola okukozesebwa ng’emmere y’ensolo. Wabula nga tonnasimba wewa era oteeke ekirungo kya nitrogen mu nsigo nga ozibisse.

Obulo bwagalibwa kubanga tebukosebwa mbeera ya budde mbi, bulina ekirungo kya magnesium, butuwa emmere wamu n’okuleeta ensimbi. Okwongerako kozesa ensigo ennongooseemu, simba mu nnyiriri, kuuma amazzi n’ettaka, tangira omuddo ogwonoona ebirime, ebirime biwe amabanga, tangira ebitonde ebyonoona ebirime n’obulwadde okufuna amakungula amangi.
Endabirira y’amakungula
Fuba okukeberanga obulo okusobola okumanya we butuuse mu kukula era kungula ekirime nga kituuse okukungula. 
Era weewale okutuuma obulo era kozesa amatundubaali ng’okungula okwewaza empeke okumeruka.
Okwongerako tereka obulo obukaziddwa mu bukutiya, obuteeke ku mbaawo nga bulina amabanga agamala okuva ku bisenge okwewaza obulo okuyingiza amazzi okuva wansi ne ku bisenge.
Ekirala, tambuza obulo obukunguliddwa okuva mu nnimiro, bukaze, bupakire mu bukutiya era otereke obukutiya ku mbaawo.
Okwongerako, obulo bukubire ku ttundubaali, buwewe, bupakire mu bukutiya era obukutiya buteeke ku mbaawo okuziyiza emmese n’okuwumba.
Ekisembayo kungula empeke kasita zikaluba kubanga okulwawo okukungula kuvaamu okweyasa kw’ensigo z’obulo.
Ebisoomooza
Ebimu ku bisoomooza abalimi b’obulo bye basanga mulimu, akasana akangi, ebinyonyi, obulwadde, omuddo ogwonoona ebirime, entereka n’okukka kw’ebbeeyi yaabwo ku katale.
Okutema empenda
Ebisoomooza bisobola okugonjoolebwa okuyita mu kujjuza amabanga, okutangira omuddo ogwonoona ebirime, okulambula ennimiro, okuteekamu ebigimusa, okusimba ensigo ennungi, okutambuza obulo oluvannyuma lw’okukungula wamu n’okukungula ng’ensigo zikalubye.
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:44Obulo tebukosebwa mbeera ya budde mbi, bulina ekirungo kya magnesium, butuwa emmere wamu n'okuleeta ensimbi.
01:4503:08Obulo buli nnyo ku katale.
03:0903:59Fuba okukeberanga obulo okusobola okumanya we butuuse mu kukula era kungula ekirime nga kituuse okukungula.
04:0005:38tereka obulo obukaziddwa mu bukutiya, obuteeke ku mbaawo nga bulina amabanga agamala okuva ku bisenge.
05:3906:57tambuza obulo obukunguliddwa okuva mu nnimiro, bukaze, bupakire mu bukutiya era otereke obukutiya ku mbaawo.
06:5807:52obulo bukubire ku ttundubaali, buwewe, bupakire mu bukutiya era obukutiya buteeke ku mbaawo.
07:5309:45Ebisoomooza mu kulima obulo:akasana akangi, ebinyonyi, obulwadde, omuddo ogwonoona ebirime, entereka n'okukka kw'ebbeeyi yaabwo ku katale.
09:4612:44jjuza amabanga, tangira omuddo ogwonoona ebirime, lambula ennimiro, teekamu ebigimusa, simba ensigo ennungi, tambuza obulo oluvannyuma lw'okukungula wamu n'okukungula ng'ensigo zikalubye.
12:4513:45Nga tonnasimba wewa era oteeke ekirungo kya nitrogen mu nsigo nga ozibisse.
13:4616:01Ggyako ebikuta by'obulo, kozesa ensigo ennongooseemu, simba mu nnyiriri, kuuma amazzi n'ettaka, tangira omuddo ogwonoona ebirime, ebirime biwe amabanga, tangira ebitonde ebyonoona ebirime n'obulwadde.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *