Okusinzira nti kino ekirime kirimu ebiriisa eby’enjawulo eri abaimi, okulima lumonde kusinzira ku kika n’omutendera gwa tekinologiya ogukozeseddwa.
Mu mwezi gumu nga tonakungula lumonde, lamba ebimera 25 ebiramu mu nnimiro nga oteeka obuti okubirinaana ne mu biseera by’okukungula, tereka emirandira egikuze 40 okuva ku bimera nga wetegekera olusimba oluddako okufuna ensigo. Emirandira egiterekebwa girina okuva ku bimera ebigimu.
Engeri y’okufunamu ensigo
Okusooka, mu nnaku 3 ne 5 nga tonaba kukungula, kebera ebimera ebirondeddwa nga tokozeseza bimera birina bulwadde okuterekebwa., mu nnaku 3 ne 4 , sala wansi w’enduli i ey’ekimera ekiramu nga oleseyo cm olusus lw’omurandira lusobole okugguma n’okuterekebwa obulungi. Kungulu nga ettaka likaze bulungi oleme kusala oba kwonoona mirandira.
Mu ngeri y’emu, kungula, tereka emirandira 40 egy’ekigero ekigere era olinde olusimba oluddako gisobole okuvaako emirandira 1500 egisalibwa. Ggyako ettaka ku mirandira ng’okozesa engalo era ogiteeke mu kasikirize okumala essaawa ntono nga togitadde mu kasana k’ennyini. Mu kutereka emirandira wetaaga empapula za mawulire okuziteeka mu mukebe, omukebe n’omusenyu ogukunganyiziddwa guleetebwa ne guteekebwa mu mikebe. Kaza era oweweze omusenyu mu kasikirize okukakasa nti temuli bisaasiro era gukalidde ddala
Mu kwongerezaako, teeka wansi w’omukebe olupapula lw’amawulire era ogatteko omutendera gw’ekipimo kya cm 2 oba 3 ez’omusenyu oteeke n’omutendera gumu ogw’emirandira okakase nti tebyekonako. Bikkira ddala emirandira n’omutendera ogw’omusenyu omukalu era weyongere okuteekako omutendera gw’omulandira n’omusenyu okutuusa nga omukebe gujjudde n’omutendera ogusembayo oguweza obuwanvu bwa cm 10 okutangira ebiwuka, enkoko n’obusolo obutawaanya ebirime okutuuka ku mirandira. Tobikka mukebe, gutereke mu kifo ekikalu ewatatuuka baana , enkoko, bbugumu, nkuba era tobikwatako okutuusa nga ekiseera ky’okukebera emirandira kituuse ekikolebwa omulundi gumu mu mwezi okukasa nti miramu. Ggyamu omulandira ggumu ku ggumu okuva mu mukebe nga bwojjekebejja era osule egivunze n’egyirirddwa obuwuka era oggyeko emitunsi okuva ku mirandira n’oluvanyuma ojjuze omukebe n’emirandira egisigaddewo emiramu nga bwewakoze mu kusooka.
Nga omalirizza birambule omulundi ogusembayo, toggyako mittunsi era tegeka emmerezo ya mita 3 ku 5 otandiike okusimba emirandira egiterekeddwa nga okozesa enkola eya emirundi essatu giyite tripple S.