Akatungulu kasobola okukulira awantu wona kubanga osobola okukakasuka mu ttaka ekalu naye era nekakola emirandira nekamera.
Ekintu ekisooka obukulu bwebudde mwosimbidde. Obutungulu bulina emitendera gyokukula ebiri. Waliwo ogwokusaako amakoola nogwokukola balubu. Mu mutendera gwokukola ebikoola, olina okukakasa nti ofuna ebikoola bingi ddala ku katungulu . Buli kikoola ku katungulu kikikirira omugo wandi ku kimere nolwekyo ebikoola gyebikoma okuba ebingi, nakatungulu wansi okugejja. Okusimba nga bukyali kikulu nnyo okusobola okusako ebikoola ebiwera era funa ebikola bingi nga bwosobola.
Okusimba n’okufukirira
Olupiira okuli obutulu lutekebwa wansi ku fuuti 2 okufukirira obutungulu. Okufuna ebikoola ebingi kusoboka nga akatungulu okowa amazzi mangi okuyita mu kufukirira wamu nokusaako ebigimusa nga oyita mu bupiira.
Nga omaze okutekamu empiira za’amazzi, obutungulu busimbibwa mu layini bbiri bbiri. Kino kikuyamba okufuna enkululo bbiri buli layini olwo nokekereza ku kifo.
Ekiseera kyokuliisa
Ekintu ekikulu ekyokubiri mu kulima obutungulu obunene kwekuliisa. Obutungulu bwagala amazzi mangi wamu n’ebigimusa. Engeri emu eyokubuliisa yeyokuyita mu kusa ebigimusa mu mazzi agafukirira. Mu banga erisooka, tekamu 20-20-20 nga oyita mu mpiira z’amazzi.
Obutungulu obuto bwetaaga phosphorus ne potassium okusobola okukulako emirandira. Buli lwebukula bubeera bwagala Nitrogen.
Okusaamu ebigimusa
Obutungulu nga bukula, okyusa nodda ku bigimusa ebivaamu Nitrogen okusinga okugeza chilean nitrate. Bwoba ofuyira ku ngulu osobola okufuyira chilean nitrate wakati mu layini z.obutungulu.
Bwekituuka ku kukola akatungu wansi, olabibira ku nyiriri enetolovu ku katungulu wamu n’amazzi amangi agetagisa akatungulu okuba akanene nga kalimu omubisi.