Okufuuyira kimu ku kusoomooza abalunzi kwe basanga kubanga ebiseera ebimu, embeera y‘enkwa okuguba nga tezikyafa ddagala yeeyoleka.
Embeera y‘enkwa okuguba nga tezikyafa ddagala eyinza okuvvuunukibwa n‘okukyusa eddagala erikozeseddwa buli luvannyuma lwa myezi esatu. Nga okyusa eddagala erifuuyibwa, laba nga okyusa okudda ku ddagala eririmu ekirungo ekikola eky‘enjawulo ku ekyo ky‘obadde okozesa, kubanga eddagala erifuuyibwa lisobola okutuumibwa amannya ag‘enjawulo naye nga lifaananya ekirungo ekikola.
Okufuuyira
Okufuuyira obulungi, beera n‘ekifo ekizimbe w‘ofuuyirira ensolo zo era fuuyira nga okozesa ebikozesebwa ebirungi ebirina amaanyi agamala okusindika eddagala. Ebbomba ekozesa amafuta ekola bulungi nnyo kubanga ensindika yaayo ey‘eddagala eri waggulu ate mpangaazi.
Fuuyira buli wiiki era fuba okulaba nga ofuuyira ebitundu ebikulu enkwa mwe zitera okwekweka era mu bino mulimu; mu matu, mu nkwakwa, ku mukira, wansi w‘ensigo era ne mu bulinnya.
Amazzi goomumutima
Okuguba kw‘enkwa okuba nga tezikyafa ddagala bwe kweyoleka oluvannyuma lw‘okufuuyira eddagala erimu okumala emyezi esatu oba ena, otandika okufuna ensolo ezifuna ekirwadde ky‘amazzi goomumutima. Obubonero bw‘enfuuyira etali nnungi mulimu okufa obukalaga nga kiva ku mazzi mu mutima.
Omusujja, okukankana, n‘okubeera n‘ekyovu mu kamwa bubonero bw‘amazzi mu mutima. Okwekebejja ekisse ensolo kijja kulaga mazzi mu mutima.
Obulwadde bw‘amazzi goomumutima bwe bulumba ekisibo ekyalumbibwa edda obulwadde obulala, ensolo ezifa ziba nnyingiko.