Okuyunga ebirime kikolwa ekikolebwa okusinga abalimi abafuna amagoba nabo abatafuna okwetolola ensi era nabalabirira enimiro okufuna ebimera eby‘enjawulo.
Ekitundu ekyawaggulu ku kimera ekiyungibwa kiyitibwa tabi (scion) era ekyawansi kiyitibwa nduli (root stock), okuyunga ebirime bino kyamugaso nnyo naddala eri abalimi be bibala okuyunga okwenjawulo okubanguyira okuyiga.
Emigaso eri abalimi
Okuyunga kuleeta okufuna ebika by‘ebimera ebyawufu naddala ebibala ebisikiriza abalimi n‘ababirya ekyongera ku katale kabyo.
Engeri emiti ejimu gyegikwatibwa enddwadde amangu mu budde obubi nolwekyo okuyunga emiti ngegyo kyongera ku bugumu bwagyo eri obulwadde. Okwongerako ebirme ebiyunge bisaako ebobala n‘ebimuli mangu bwogerageranya n‘ebyo ebitali biyunge elireeta okubala ebimuli n‘ebibala amangu ddala.
Ate era ebikozesebwa mu kuyunga by sente ntono bwogerageranya nokusimba ensigo olwo nno nekitaasa abalimi okusasanya enyo sente.
Okuyunga mu ngeri yemu eyongera ku mutindo gw‘ebibalal, ebikoola n‘ebimuli bwogerageranya ku bimera ebukizibwa okuva mu nsigo era ne‘kisembaya okuyunga kuyamba okukyusa enfanana y‘ebirime okwawukana ku buzaliranwa bwabyo.