Ebikolebwa mu kulabirira semutundu
Tandika nakulonda sitoko enungi era oteeke enkwanso mu kifo ekizimbidwa okusobozesa okwalula obulungi. Era kebera emikebe omwalulibwa nga ogiska mpola mpola mu mazzi okuganya n’okutambuza amaggi okugenda gyegalulizibwa. Okwongerako amaggi agakunyizibwa gatambuze nga ogatade mu kalobo ka mazzi mpolampola nga onyola ebitambuza amazzi. Okugattako, bala obungi by’obuyamba era obuwewe, bwomala oteeke ekisawo mwebuli mu pipa ya mazzi enene okumanya omuwendo gw’obusemutundu oguyinza okutekebwa mu kidiba.
Obukwakulizo obw’okugoberera
Bu semutundu obuto oubuwuga buliise emirund 4 ku 8b mu lunaku era obuwe emere nga ya mpeke gyebweyongera okukula. Era wekenenye nnyo omutindo gw’amazzi mu kidiba okukakasa nti gali mu mbeera ekuzza ebyenyanja obulungi era opime ebyenyanja nga tonabilongosa. Okugatako, ebyenyanja bivube ku myezi 18 nga okozesa akatimba akasanide okusobozesa obwenyanja obutono okuyitamu, bisngeke, obipakire olwo obitwale nga okozesa entambula enungi.