Bwoba otandika okwaluuza semutundu, owabulibwa obutakozesa mazzi agavude obuviku nayikonto. Sooka obeko wogateka, ogatekemu eddagala, era ogakoleko gabeere nga gasaanide eri obuyamba. Kino era kiyamba ne Oxygen okunyikira mu mazzi.
Engeri yokwaluuza
Awalulirizibwa, tekikiribwa kusalamu nkwaso kugwa bugwi ku ggi kubanga kino kiyingiza ebikyafu mu ggi. Enkwaso gyaluze nga wewala ebikyafu era nga kino kyongera n’ekumikisa gyokwalula obulungi. okwaluza kukolebwa nga osala enkwanso nga oziteeka mu mazzi agalimu olunnyo era ozirekemu okumala esaawa 1 ku 3.
Awalulizibwa , kolawo nga wansi wali mu alumnium era wansi wayo otekeyo awava ebbugumu (gaasi). Kino kiyamba okukola nga awava ebbugumu. Olububi lw’omunda walina okolebwa mu matundubaali kubanga lino likwata ebbugumu okuva mubyetolode era neririsasanya mu mazzi.
Okwalula kubaawo wakati w’esaawa 8 ku 24 okusinzira oba esigiri zitekebwako oba nedda era nga okwalula kuwedde, kakasa nti otwala obuyamba ku faamu nga bulimu amazzi amalalaera nga buliwaggazi okwewala okuziyira.
Nga wayise enaku 2 ku 3 nga ebyenyanja ebyalubwa byakatandika okulya, gyamu obuyamba obutwale mu kidiba ekirimu amazzi amayonjo kubanga amaggi agalubwa gazaala obutwa okuva mumubiri nolwekyo kikulu okubiyonja nga tonabiriisa byenyanja.