00:00 | 02:02 | Kakasa nti okola okunoonyereza era ofune obukoko obuli ku mutindo ogwa waggulu okuva mu bayaluzi abamanyikiddwa. |
02:03 | 02:26 | Obukoko buwe emmere eri ku mutindo ogwa waggulu n'amazzi mu budde obutuufu |
02:27 | 02:55 | Ziwe emmere y'enkoko z'ennyama etabuddwamu ebiriisa byonna n'ekirungo ekiziyamba okugejja mu bipimo ebituufu. |
02:56 | 03:21 | Nga tonaliisa binnyo birungo bibiyamba kugejja kakasa nti birina ebinywa n'amagumba amaggumu. |
03:22 | 04:02 | Enkoko ziriise nnyo naddala nga zikyali nto nnyozisobole okufuna ebinywa n'okugguma amagumba. |
04:03 | 04:18 | Ebirungo ebiteekeddwa mu mmere y'enkoko z'ennyama zisobole okugejja; kasooli, soya, groundnut cake, palm kernel cake n'emmere y'eby'ennyanja. |
04:19 | 04:53 | Gattamu kasooli, soybean, groundnut cake mu bipimo eby'enkanankana 2:1:1, kwota 1/4 kg ya palm kernel ne waafu 1/2 kilo y'emmere y'eby'ennyanja. |
04:54 | 05:42 | Ebinyonyi bitandise emmere ezireetera okugejja naye ate toziwa nnyo mmere eyo. |
05:43 | 06:41 | Enkoko era zawule ng'osinzira ku buzito n'obunene era oziriise zokka ezo zoyawudde. |
06:42 | 07:24 | Ebinnyonyi biwe bulungi emmere eri ku mutindo, amazzi n'okuziwa ebbugumu naddala mu nnaku musanvu ezisooka. |
07:25 | 08:26 | Emmere y'enkoko esookerwako giteekemu ekirungo kya crude protein ekya 23 ku buli kikumi ne 19 ku buli kikumi mu mmere gye zirya nga zikulidde ddala. |