Emiganyulo gy’ekirime kya mint
Ensaano y’ekirime kya pepper mint erina emiganyulo mingi eri enkoko z’ennyama kubanga eyongera obuzito mu nkoko z’ennyama nga bw’ekendeeza ku buzibu mu byenda by’enkoko. Okwongerezaako, ensaano eno ekendeeza ku kufa kw’enkoko, eyongera ku kulya kw’enkoko wamu n’okuzikuza amangu.
Ekirala eyongera ku nkuba y’emmere mu lubuto ennungi wamu n’okwongera ku mmere eriibwa olwo okukula kwazo ne kweyongera. Era ekirime kya pepper mint kitta obuwuka obw’obulabe, kyongera ku nkuba y’emmere mu lubuto ennungi n’okulya kw’emmere, wamu n’okutangira ekkabiriro.
Enteekateeka y’ensaano
Tandika na kulonda bikoola by’ekirime kya pepper mint eby’omutindo, oluvannyuma obyoze bulungi. Okwongerezaako, ebikoola by’ekirime kya pepper mint bikaze, kino kirina okukolebwa mu kasiikirize naye si butereevu mu kasana. Ekirala, ebikoola bise bifuuke ensaano oluvannyuma ogattemu 4.5g z’ensaano mu buli kilo y’emmere y’enkoko z’ennyama.