Ebinyonyi bikwatibwa endwadde nnyingi, naye ezisinga okulabikalabika mulimu:ekiddukano,sotoka, samonella, namusuna w‘enkoko n‘obuva ku mmere etalimu kiriisa.
Endwadde zino birabibwa ku kubiika amaggi amatono,endya entono,okufa kwazo n‘ebiva mu nnyindo zaazo nga eminyira.
Kikulu nnyo okuyonja ebinywero ne ssabbuuni ate era ow‘ebinnyonyi emmere erimu ebiriisa eby‘enjawulo.
Bwoba ogema enjoka fuba okulaba nga enkoko oziwa amasanda ga mappappali nga gatabuddwa mu mazzi n‘ekirungo ky‘enkomamawanga okumala ennaku 5 buli lunaku.
Ebisusunku bya maggi birina okufumbibwa nga tebinaba kusekurwa n‘okwongerwa mu mmere y‘ebinyonyi okusobola okwewala ebinyonyi okulya amaggi gaazo.
Okwetangira ng‘okozesa obutonde
Mu kusookera ddala yonja ebiyumba by‘ebinyonyi buli lunaku okusobola okwewala endwadde.
Ebinyonyi biwenga amazzi amayonjo nga ogassemu ekirungo kya potassium permanganate okubikuuma nga biramu bulungi.
Oluvannyuma gattamu katungulu ccumu n‘obutungulu mu mmere y‘ebinyonyi omulundi gumu mu wiiki okwewala endwadde era ebinyonyi eddagala erikaawa omulundi gumu mu mwezi.
Okwongerezaako kwebyo gema ebinyonyi ne ddagala eririmu ekirungo ky‘enkomamawanga ogattemu n‘egiiko za masanda ga mappappali 5 mu mazzi.
Nga ovudde kwebyo, salaasala obusujju obutono obutabule mu mmere y‘ebinyonyi omulundi gumu buli mwezi.
Buli mulundi gattamu ebisusunku bya maggi ebifumbiddwako mu mmere y‘ebinyonyi bisobola okugguma amagumba n‘okukuuwa amaggi agakaluba ekisusunku.
Gattamu, lime omukalu, ensaano y‘engano mu mmere y‘enkoko okuziyiza endwadde eziva ku mmere etalimu kirungo ekiggumya amaggumba n‘amannyo n‘okukuuwa amaggi agal ku mutindo.
Ng‘omaliriza kozesa ebikoola bya kalitunsi,omuddo gw‘ekisubi, ensaano ya rose mary,vitex mu biyumba by‘ebinyonyi okwewala ebitonde ebitawanya ebinyonyi ng‘obuloolo.