Kasooli kirime ekiriibwa at‘era ekitundibwa eri abalimi bangi naye engeri y‘okuyigamu okumulima naye ng‘okukozesa ekigimusa ekifuuyira ku bikoola n‘ekiteekebwa mu ttaka bikuyamba okutumbula amakungula
Weewalenga ettaka erya mayinja, ery‘olusenyu n‘eritaka nnyo wansi kuba liziyiza kasooli okukula. Waliwo ebyuma eby‘enjawulo ebikozesebwa mu kusimba kasooli nga ebisawa omuddo, n‘ebisima ebinya. Nga okozesa ekigimusa ekifuuyira n‘ekyo ekiteekebwa mu ttaka bitumbula ku makungula ga kasooli.
Emitendera gy‘okulima
Sooka na kunoonya ekifo ekirina ettaka eggimu nga lirimu amazzi agamala ate olikabale oba okozese eddagala erifuuyira nga tonasimba okusobola okugyamu omuddo n‘okugonza ettaka.
Wano londa ensigo ennungi ate nga zikula mangu okusobola okufuna amakungula amalungi era osige ng‘osinzira ku biseera ebiragiddwa.
Okwongerako kebeera obusoboozi bw‘ensigo ez‘omutindo ezikakkasiddwa ng‘obala, ng‘osiga ng‘ofuuukirira ensigo zino.
Ng‘ogasseko simba ensigo ng‘osinzira ku by‘oggye mu ku kebeera obusoboozi bw‘ensigo wakati w‘ebitundu 85 -100 ku buli kikumi simba ensigo bbiri zokka, ku bitundu wakati wa 70-84 ku buli kikumi simba esingo 3 zokka, ku bitundu wakati wa 50 – 70 ku buli kikumi simba ensigo 4 zokka oba funa ensigo ennungi ne ku bitundu wakati wa 0 -50 simba ensigo empya.
Simbira mu nnyiriri ng‘okozesa ebikozesebwa eby‘enjawulo wakati wa mabanga 80cm ne 40cm okuva ku kirime ekimu okudda ku kirala mu kinya mu kukka obuwanvu bwa 5-7cm.
Ekigimusa ekifuuyirwa ku bikoola n‘ekiteekebwa mu ttaka.
Teekamu ekigimusa kiro 100 buli yiika nga osima ebinya bya 5cm okuva ku kirime mu wiiki esooka.
Era teekamu ekigimusa ekisookerwako mu kufuuyira kasooli nga yakamera mu buli yiika kwegamba teeka 50ml mu buli liita 15 mu boomba mu wiiki ey‘okubiri.
Ng‘omaliriza pima ekigimusa ekisookerwako kya 25ml era oyiwes liita 15 mu boomba efuuyira nga togijjuzamu mazzi, bwomala ogibike era oginyeenye n‘ oluvanyuma ogijjuze amazzi.