Okupima obudde kintu kikulu nnyo bwoba olina ebyokola ku faamu.
Okukomola emimwa kye kimu ku bintu ebikolebwa era ekirina okuteekebwako essira naddala mu balunda enkoko za maggi. Kino kikolebwa okwewala okubojjagana mu nkoko, n‘okulya amaggi, kubanga enkoko bwezikula, zisobola okukozesa emimwa gino emisongovu okubojja n‘okwonoona amaggi kyokka bwezikomwolwako emimwa kitangira okwebojjana kwebyoya ekireetera enkoko okuteeka amaanyi amangi mu kukuza ebyoya ebipya gezanditadde mu kubiika .
Okukomola emimwa gy‘enkoko
Tokomola mimwa gya binnyonyi wakati wa wiiki 5 ku 6 kubanga ebbanga lino, ebinnyonyi birina emikisa mingi nnyo egy‘okukwatibwa obulwadde bwa Gumboro.
Tobikomola ku wiiki 12 kubanga ku bbanga lino, ebinnyonyi biba byakaweza kilo 1 ate nga byetegekera kutandiika kubiika maggi. Okuzikomola ku bbanga lino kiziretera okugwebwako emirembe era kikendeza ku nkula yaazo.
Ekiseera ekituufu eky‘okukomolerako ebinnyonyi kirina kuba wakati wa bbanga lya wiiki 8 ku 10.