Engeri y’okutangiramu obulwadde kyankizo nnyo kulw’okukulakulana kwa bizinensi y’obulunzi bwebinyonyi.
Okuziyiza enddwade ku faamu kikolebwa okutangira okujja n’okusasaana kw’obuwuka obusirikitu obw’obulabe. Abakola emirimu gy’ekikugu, abagenyi, ensolo z’omunsiko, ebirundibwa awaka n’emotoko enkozi z’emirimu byebimu kunsibuko, era bisobola okusasaanya obulwadde ku faamu. Enkola y’okutangira obulwadde mukuyingira ku faamu kintu kirungi era nga buli mugenyi ayina okuyimirala wano nga tanaba kuyingira munyumba y’abinyonyi.
Enkola z’okutangira obulwadde
Omutendera ogw’omugaso mukukendeeza okusasaana kw’obulwadde kwekukendeeza kukukwaatagana kw’abagenyi nekifo ku faamu. Kino kisobola okutuukirizibwa okuyita mukwambala butusi nga abagenyi tebanayingira ku faamu. Era butusi ziyamba abagenyi obutatwaala buwuka obusirikitu okuva ku faamu.
Omugenyi bwaba nga avuga okuyingira mu faamu, emipiira giyina okubeera nga gifuyidwaako neddagala lingi eritta obuwuka naye ate emipiira bwegiba nga giddugala era nga giriko ebisooto, ky’amugaso nti emotoka esigala kumulyango awakebererwa kubanga ebintu ebiddugala tebisobola kufuyibwaako ddagala.
Oba omuntu aze avuga oba nga atambula, kyamugaso nti omugenyi ayambala eby’okwekuuma nga butusi, ovulo, erementi ebisabika engalo wamu n’akabika ku nyindo okutangira enfuufu.
Nga tonaba kuyingira nyumba yankoko, Omugenyi ayina okulinya mu ddagala eriyoza ebigere. Abagenyi nga bava ku faamu y’ebinyonyi, eby’okwekumisa byabwe bisaanye okubagibwaako baleme kutwaala nddwade okuva ku faamu kugenda mubifo ebirala oba faamu endala.