00:00 | 01:28 | Azolla kirungo ekyogerezebwako eky'obutonde ekyongeza ku nkula wamu n'engeeri enkoko gyezikolamu ez'amaggi n'ezenyama. |
01:29 | 02:22 | Azolla amera ku mazzi omuli proteins, lysin, energy, calcium, potassium ne magnesium. |
02:23 | 04:03 | Alimu ne vitamini A akola ku mutindo gw'amaggi. Azolla ayambako mu kubikisa amaggi. |
04:04 | 04:55 | Azolla era ayambako okutumbula omutindo gw'amaggi engeri gyalimu protein, calacium ne vitamini. |
04:56 | 06:07 | Era ayambako okwongera ku buzito wamu nokwongera abasirikale mu nkoko z'enyama. |
06:08 | 06:32 | Ensaano ya Azolla eyongeza ku nkozesa y'emere mu mubiri mu nkoko z'enyama nezigejja mangu. |
06:33 | 08:21 | Azolla akendeeza okufa mu nkoko z'enyama wamu nokukendeeza sente ezitekebwa mu kulunda enkoko. |
08:22 | 08:45 | Okukola ensaano ya Azolla, munoge nga akuzze, omukalize mu musana, omusekule olwo omuteeke mu mere y'enkoko. |
08:46 | 09:08 | Nga omaze okutekateka, ogate gulamuzi 100 mu buli kilo ya mere ya nkoko. |