Emitendera 14 egy’okukendeeza okufa mu bukoko obuto ku faamu yo

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=-wW3JZCOMTA

Ebbanga: 

07:13:00

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2022

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Agribusiness Insider
Obukoko obuto bwakwegendereza mu wiiki esooka nolwekyo bwetaaga okukwata obulungi okukuuma ekisibo nga kiramu, kino kiyinza okubamu okutekawo enkola eyewala obuwuka n'endwade okubalukawo. Okugatako, kikubirizibwa okugula obukoko okuva eri abesigika. Okwongerako, wekenenye nga embeera z'obukoko okwewala okugula obulwadde, obutali bulamu bulungi. obutali bw'amutindo. Era kakasa nti obukoko obuwa ebbugumu eryetagisa.
Endabirira okutwaliza awamu
Kumanga ebinyweramu n’obutiba nga biyonjo kwosa nokukuuma ekiyumba nga kiri mu mbeera nungi nga kirimu ekitangala okukendeeza emikisa gyobulwadde okubalukawo wamu sokuziyira. Era enkoko ziwe amazzi nga tonaziwa mere okuzisobozesa okulya obulungi. Okwongerako, tangira faamu yo okuva eri ebisolo ebirya enkoko, yonja ekiyumba ky’enkoko era oziwe amazzi n’emere ebimala. 

Engeri y’okukuuma mu obulamu

Gobereranga era owe eddagala etuufu wamu nokuzigemanga ku budde obuli ku kalenda. Okugattako, yita omusawo w’ebisolo bwewabo obulwade obuguddewo ku faamu. Okwongerako, tekawo ebbugumu erimala w’ozikumira era okuume ekisibo kyo okuva eri obunyogovu. Era ebinyonyi tobiriisa emere ewumbye kubanga ebeera ya butwa. 
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:41Obukoko obuto bwakwegendereza mu wiiki esooka nolwekyo bwetaaga okukwata obulungi okukuuma ekisibo nga kiramu.
00:4201:15Byolina okuteka mu nkola: Funa obukoko okuva eri abesigika era obwekenenye obulamu bwabwo.
01:1601:50Butekeremu ebbugumu erimala era obukuume okuva eri obunyogovu.
01:5103:07Kuuma mwebunywera wamu n'obutiba nga biyonjo kwosa nokukendeeza emikisa gyokuziyira.
03:0803:59Tangira faamu okuva eri obuwuka n'endwadde era wewale okuliisa ebinyonyi emere ewumbye.
04:0004:59Ebinyonyi biwe amazzi nga tonabiwa mere, kuuma faamu okuva eri ebirya ebinyonyi era wekenyenga nga faamu.
05:0006:04Longoosa ekiyumba oluberera era oziwe amazzi n'emere ebimala.
06:0507:13Goberera enzijjanjaba wamu ne kalenda y'okugema era oyite omusawo okukeberanga ku binyonyi byo.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *