Ennyaanya ziwa amagoba mangi ate nga nnyangu za kusimba okuva mu nsigo okutuuka ku makungula, zeetaanga enkola z’okulima ennyangu.
Wabula bwoba omerusa ensigo z’ennyaanya weewale okukozesa ettaka ly’omu nnimiro kubanga teritambuza bulungi mazzi ate liyinza okubaamu obulwadde. Bwoba osimba ennyaanya kikubirizibwa nnyo okusimba ensigo bbiri buli kinnya olw’ensonga nti singa emu efa endala emera.
Emitendera gy’okulima
Tandika na kuweweeza w’ogenda okusimba ensigo olwo ettaka olikkatire mpola okuggyamu empewo. Ekyokubiri kola ebinnya bibiri nga bya kitundu kimu kyakuna mu kukka buli awagenda okusimbibwa, simba ensigo emu mu buli kinnya obikke n’ettaka ettonotono. Okwongerako, kkatira waggulu mpolampola okuggyamu empewo n’amazzi. Oluvannyuma, bikka ky’olimirau okiteeke mu kifo ekiweweevu kya bipimo bya ddiguli 70-75F okukuuma obuweweevu n’okusobozesa ensigo okumeruka.
Endabirira y’ennyaanya
Lambula endokwa buli kadde, kakasa nti ettaka liweweevu era endokwa oziteeke mu kitangaala oluvannyuma lw’okumeruka okuyingiza empewo eyeetaagisa mu kukula obulungi. Oluvannyuma kendeeza ku bikoola nga endokwa za inch 2 obuwanvu, teekamu ebigimusa buli wiiki ng’endokwa zifunye ebikoola bya mirundi ebiri. Kakasa nti ennyaanya ozisimbuliza singa emirandira gijjula we wazisimba ng’oziika enduli okusobozesa emirandira emirala okujja era fukirira endokwa.
Okusimbuliza n’okulabirira
Okwongerako, endokwa bweziba n’obuwanvu bwa fuuti emu zisimbulize ng’oziika enduli ya wansi okutali bikoola okusobozesa emirandira emirala okujja n’ekisembayo fukirira bulungi, kozesa ebiwanirira ebirime, biteekeko olukomera era obikke ennimiro.