Ekiruubirirwa ekisooka mumitendera gy’okukama kwekufuna amata amangi nga gamutindo, okukeedeeza ku bbanyi n’okukendeeza ku kabiriro eri ente wamu n’abakozi.
Newankubade, nga emitendera okufuna amata agali kumutindo kitandika n’amulunzi okuyita mubutakyuukakyuuka wamu n’okukamira mubudde. Bulijo tegeera enyumba omukamirwa era owandiike emitendera okusobola okwanguyiza abakozi.
Enkola ezisaanide
Bulijo kendeeza ku kabiriro ly’ensolo era okame mubudde okusobozesa okuta ekirungo kya oxytocin hormone ekiyamba mukuleeta amata.
Okugattako, yoza yoza engalo nessabuuni era osabike engalo nga tonakama okukendeeza kukusasaana kwe bbanyi mukukama era n’okukuuma olususu lw’omukami.
Mukw’eyongerayo, longoosa ente nga tonakama naye wewale okutobya ekibeere kyona kubanga kino ky’ongera kukusasaanya ebbanyi n’okwongera ku buwukaobusirikitu obuyitibwa bacteria mu mata.
Bulijo sooka okebere enywanto okumala obutikitiki 10-20 ku buli nte, kino kiyamba omukami okw’etegereza ebbanyi mu mata era n’okusikiriza enywanto wamu n’ekibeere okuta amata. Newankubade, tokeberera mu ngalo oba akatambaala kubanga kino kiyinza okusikirizisa okusasaana kwe bbanyi.
Ate era sooka onyike enywanto mu ddagala eritta obuwuka okumala obutikitiki 30 okuziyiza ebbanyi era kaza bulungi enywanto, naye tokozesa ekikaza ky’ekimu ku nte.
Kakasa nti akatambaala akakozesebwa okw’oza n’okukaza enywanto k’ozebwa ne ssabuuni oluvanyuma lw’okukozesebwa okusobola okutangira ebbanyi.
Bulijo teekako ebintu eby’eyambisibwa mukukama okumala eddakiika 1 ku 1.5 okusobola okukakasa okujja kw’amata era ojukire okukebera ebikama okukakasa nti amata gonna gavuddemu mukibeere.
Kakasa nti ebikama bigibwaako bulungi mubudde okw’ewala okukosa enywanto, bulijo nyika enywanto oluvanyuma lw’okukama okusobola okutta obuwuka obusirikitu ku nywanto era okuume obukopo bwenywanto oluvanyuma lw’okukama nga buyonjo okusobola okukendeeza okusasaana kwe bbanyi.
Ekisembayo, kebera okukola kw’okunyika enywanto oluvanyuma lw’okukama nga osiba akatambaala kolupapula okw’etoloola enywanto.